Musasi waffe
Katikkiro Charles Peter Mayiga agambye ng’Obuganda bujaguza olwa SSaabasajja Kabaka okuweza emyaka 27 ng’atudde ku Nnamulondo ya bajjajjabe, Buganda eteekeddwa okufuna federo y’ekolere ku nsonga zaayo.
Mububakabwe bwatisse ba minisita, Oweek. Noah Kiyimba mu kusaba mu Lutikko e Lubaga wamu n’Oweek. David Kyewalabye Male mu kusaba mu maka ga Ssaabalabirizi Dr Steven Kaziimba Mugalu e Namirembe, Mayiga agambye ebintu ebituukiddwako nga Obwakabaka tebulina federo, kabonero akalaga nti bingi bijja ku kolebwa singa bugifuna.
“Ebirungi Nnamunswa byatutuusizzaako mu myaka 27 bijja kunywezebwa nga tulina eddembe okwekolera ku nsonga zaffe ez’omunda nga tutambulira ku nkola ya federo. Bye tusobodde okukola nga tetulina federo biraga nti bwetunaagabana obuyinza tujja kusobola okukola eby’omugaso ebisingawo,” Mayiga bweyagambye.
Katikkiro yagambye nti ng’Obuganda butambuza omwaka ogwa 28, nga Cuucu alamula, busaana okukuuma n’okunyweza obumu nga bwazze abukubiriza.
Yayongeddeko nti era kisaana bulyomu, okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe okulodoola Ensonga za Buganda Ssemasonga ettaano omuli n’okugabana obuyinza.
Katikkiro yeebazizza Katonda olw’abantu bawadde Omutanda abali mumitendera egy’enjawulo abamuweereza era abamuwulira mu byonna byazze abalambikamu.
“Wegiweredde emyaka 27 okuva Nnayinimu lweyava e Naggalabi ng’Obwakaba bweyongedde okubukala mu mitima gy’abantu era tulina obubonero bungi obuggyayo ekifaananyi kyabwo.
Embuga zaffe okuviira ddala ku Bulange okutuukira ddala ku magombolola zaatuddira. Abaami ba Kbaaka okuviira ddala ku Katikkiro okutuukira ddala ku Batongole, weebali era emirimu gikolebwa,” Mayiga bweyagambye.
Katikkiro yagasseeko nti okujjukira Amatikkira kutuukidde mu kaseera ng’eggwanga liri mu katyabaga ka ssenyiga Kolona.
“Kisaana tugoberere ennambika zonna ezituweereddwa abasawo n’abakulembeze okusobola okulinnya obulwade buno ku nfeete.