Musasi waffe
Katikkiro wa Buganda Oweek. Charles Peter Mayiga asabye abantu okulonda abakulembeze abafaayo kubiruma abantu.
Bino Katikkiro abyogedde ayogerako ne Bannabuddu abeegattira mu Pewosa, ekibiina ky’obwegassi ekyatandiikibwa leediyo ya Kabaka eya CBS.
“Twagala abakulembeze abalimu ensa abagenda okulwanirira omugabo gwaffe; tulina omugabo munene mu Uganda. Bwemubeera eyo, muyimbe ekitiibwa kya Buganda n’oluyimba lwa Uganda. Njagala omukulembeze ayigiriza abantu eby’okukola,” Mayiga bweyagmbye.
Yagasseeko nti bw’oyigiriza abantu okwegatta oba obayigirizza okuvuba era abakola ekyo bebakulembeze abalimu ensa abasobola okulwanirira omugabo gwa Buganda mu Uganda.
“Bannabyabufuzi abaagala okulwanirira omugabo gwaffe bajje wano tubawe Pewosa bagende abantu ba Kabaka beegobeko obwavu,” Mayiga bweyagmbye.
Mayiga yakubirizza abantu ba Kabaka abaline kyebeekoleddewo okukkiriza babayigireko n’abalala batandike okukola nga bbo.
“Kiki ekikugaana okubaako gweweewunaganya naye? Tosobola kudda ku ntikko nga teweewunaganyizza ne banno. Kabaka akuleetedde ekyaffe ekyomunju oyagala bakuwe embuzi n’omuguwa,” Katikkiro bweyagmbye.
Ate ye kululwe minisita avunaanyizibwa ku byamawulire Oweek. Noah Kiyimba yeebazizza nnyo Bannabuddu olw’omutima gw’obwegassi.
Oweek. Kiyimba yagambye nti Pewosa ekyusizza nnyo embeera z’abantu mu byalo by’e Buddu.
“Omuntu alina omutwe nga n’enteekateeka weeri tosobola kukozesa mukisa n’ogenda mu maaso? Ab’e Buddu mutokola bulungi nnyo bwemukulemberamu enteekateeka za Kabaka era temuddirira?” Kiyimba bweyagambye.
Kululwe, Ombaka w’ekibuga ky’e Masaka, Mathias Mpuuga Nsamba yeyanzizza Ssaabasajja Kabaka olw’okubayiiyiza nabateerawo CBS ne Pewosa.
“Ffe Bannabuduu endagabutonde y’obwegassi yaffe ya nnono,” Mpuuga bweyagambye.
Banna Pewosa baakiise embuga n’ettu lya bukkadde musanvu.