
Poliisi mu Kampala eremesezza ab’ekibiina ky’ebyobufuzi ekya Uganda People’s Congress okutuuza olukiiko lw’akyo olwa bannamawulire olwa buli wiiki ng’ebalanga butassa mu nkola biragiro bya minisitule y’ebyobulamu kukuziyiza ekirwadde kya coronavirus.
Abasirikale ba poliisi abakuuma ekizimbe kya Uganda House okuli ekitebe kya UPC, balemesezza ssabawandiisi w’ekibiina kino Ebil Otto wamu n’omwogezi Michael Osinde saako ne bannamawulire okugenda mu kizimbe kino.
Bano bagezezzaako n’okwagala okuyingira Uganda House mu buwaze naye nebasingibwa amaanyi.
Osinde, yategeezezza omukutu gwa Uganda Radio Network inti baabadde batuukirizza obukwakkulizo bonna naye Poliisi ya Nkrumah Road ng’eduumirwa omusirikale ategeerekeseeko nga Mugisha kirabika baabadde n’ebigendererwa ebirala okulemesa olukungaana luno.
“Ngezezaako okwogera n’omusirikale ono okumanya wa buzibu webuva naye tayannyeze,” Osinde bweyagambye.
Ono yanenyezza poliisi olw’okuyingirira eddembe lyabwe ng’eremesa olukungaana lwabwe.
Yagsseeko nti ssaabawandiisi waabwe Ebil Otto agenda kunonyereza okuzuula ani yawadde ebirgiro by’okusattulula olukiiko lwabwe mwebabadde bagenda okuweera enteekateeka yaabwe ey’okwetaba mu kalulu ka 2021.
Omwogezi wa poliisi wa Kampala n’emirirwano Luke Oweyesigire yaganye okubaako nekyayogera nga agamba baabadde tebannamutegeeza lwaki olukungaana luno lwasaziddwamu.
URN








