Musasi waffe
Omusumba w’essaza ly’Ekeleziya ery’e Masaka, Serverus Jjumba enkya ya leero akyaddeko ku Bulange e Mmengo embuga enkulu ey’Obwakabaka bwa Buganda.
Ono e Mmengo ayaniriziddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ngali wamu ne baminisita mu gavumenti ya Kabaka wamu n’abakungu abalala.
Mu kumwaniriza, Oweek. Mayiga agambye nti ng’Obwakabaka, baasanyuka nnyo Jjumba bweyalondebwa okuddira Omusumba John Baptist Kaggwa eyawummula omwaka oguwedde.
“Ebyenjigiriza wano mu Uganda tuyinza okugamba nti Buddu ekwata kisooka olwa masomero enkumuliitu, Omusumba Joseph Kiwanuka geyateeka kumpi ku buli kigo. Bw’okola ku by’obulamu neby’enjigiriza kumpi buli muntu oba omaze okumuteekateeka,” Mayiga bwagambye.
Mayiga agambye nti Omusumba Jjumba bamulinamu essuubi ddene era n’amusuubiza enkolagana ennungi ku lw’omubulungi bw’abantu Ekeleziya wamu n’Obwakabaka bwebaweereza.
Ajjukizza Omusumba nti essaza ly’avaamu ery’e Buddu kkulu nnyo si mu Ekeleziya mwokka wabula Obwakabaka wamu ne mu by’obufuzi bya Uganda.
Agambye ssaabaminisita wa Uagnda eyasooka Ben Kiwanuka, nzaalwa y’e Masaka, abalala mulimu Katikkiro Mayanja Nkangi, ne Joseph Mulwanyammuli.
Katikkiro era asiimye nnyo Omusumba olw’okwerekereza emirimu emingi nasalawo okugenda okubalamusaako olw’omukago gwebalina okukuza eggwanga eddungi
“Ennaku zino Obwakabaka bulina kaweefube w’obuntu bulamu naye tukimanyi awo Ekeleziya wesimbye. Bwetunaakolaganira awamu tujja kujjawo enjogera egamba nti Uganda bwetyo. Tetusobola kukkiriza bintu bikyamu bitwalibwe ng’ebituufu olw’okuba ensi eyise mu bintu eby’enjawulo n’ekirowoozesa abantu nti obubbi, obugwenyufu n’ebirala ebifaanana bwebityo bituufu,” Mayiga bwagambye.
Mungeri endala, Katikkiro era atangaazizza nti tewali kukoonagana wakati w’eddiini n’obuwangwa.
“Eddiini etunyweza mu buwangwa n’ennono zaffe. Sirowooza nti Yeezu yajja kudibya byamunsi muno. Bishop bwajja kabonero kanene nnyo akalaga nti eddiini, obuwangwa n’ennono abitegeera bulungi era kyakuyiga eri ffe ffenna,” Mayiga bwagambye.
“Nebaza aba CBS ne BBS olw’enkolagana eno etuzzaamu nnyo amaanyi,” Jjumba bwagambye.
Mu kwogerakwe, Omusumba Jjumba abadde awerekeddwako ssaabakiristu w’eMutukula Regina Nalubega Kitaka, omubaka wa Kakuuto mu palamenti Kalemba Christopher, Everest Kayondo wamu n’omukungu Kiyimba Freeman, agambye nti basanyufu nnyo olw’enkolagana Obwakabaka gyebulina n’Ekeleziya gy’asabye okugenda mu maaso.
Yagasseeko nti Obwakabaka, gavumenti yawakati wamu n’Ekeleziya enkolagana yaabwe siyakyeyagalire wabula eteekeddwa okubaawo kubanga baweereza abantu bebamu.
Asiimye Obwakabaka olw’okutumbula ekirime ky’emmwanyi n’agamba nti ddala kituufu emmwanyi terimba.
“Ekigambo kino nagamba nti kiteekeddwa okussibwako omulaka; amaka gafune omulimu oguyingiza essente era akabonero kaffe mmwanyi,” Jjumba bwagambye.