Musasi waffe
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atenderezza abantu abalina kye bakola okuyamba abalala ng’ekigendererwa sikyakufuna ssente.
Oweek. Mayiga okwogera bino abadde Masaka ng’essomero ly’abaana bakiggala erya Masaka School for the Deaf, liweza emyaka 15 bukyanga litandikibwawo.
Essomero lino lyatandikibwa omukungu Francis Kamulegeya wamu ne mwannyina Sophie Kafeero.
“Emirundi mingi tufuna ebirowoozo naye nebisigala mumitima gyaffe. Mbebaza okusobola okussa ekirowoozo ky’okutandika essomero lino mu nkola. Abantu bwebaba balowooza eby’okukola tebalowooleraza mu bino. Batubuuza oba tulina obuyumba bwabapangisa. Abalala basuubula ngoye China, abalala bakuba birango nebafuna ssente empya n’enkadde. Bantu batono nnyo abayinza okulowooza ku kintu kino,” Mayiga bwagambye.
Agasseko nti omuntu atandika ekintu kyatagenda kukolamu magoba, kiraga omutima ogulumirirwa abantu abalala.
“Waliwo abagamba nti ssente ozirina, naye abasinga okuba n’essente bebasinga okuzaagala era bebataagala kufiirwa yadde ekikumi. Bano balina obuggaga mu mitima era tubeebaza nnyo,” Mayiga bwagambye.
Ku lulwe, Kamulegeya agambye nti abantu abasukka mu kakadde kamu be batayogera era nga tebawulira nga kyetaagisa abantu bano obutalekebwa mabega.
“Abantu bano bagamba nti boogera naye mwe mutawulira, okubeera kiggala tekitegeeza nti tebalina kyebasobola kukola. Abaana abasinga obutayogera, obulemu buno babufuna bamaze kuzaalibwa olw’okufuna omusujja gw’ensiri,” Kamulegeya bwagambye.