• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Abakulembeze bakubiriziddwa okuyiga okuta obuyinza g’Omulabirizi w’e Mityana atuuzibwa

Gambuuze by Gambuuze
February 4, 2020
in Amawulire
0 0
0
Abakulembeze bakubiriziddwa okuyiga okuta obuyinza g’Omulabirizi w’e Mityana atuuzibwa
0
SHARES
15
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Musasi waffe

Reverend Dr James Bukomeko atuuziddwa  ng’omulabirizi w’obulabirizi bw’e Mityana ku kkanisa ya St Andrews Church e Namukozi.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asinzidde wano n’akubiriza abakulembe ku mitendera egy’enjawulo okuyiga okuwaayo obukulembeze mu mirembe eri abantu abalala.

“Akalombolombo k’okukyusa obukulembeze kalungi nga twerekereza netukwasa abalala. Ssaabalabirizi Ntagali temulaba ng’akyali muto naye yeerekereza. Tweyongera okukulaakulana kubanga bulyomu ajja n’ebirowoozo bye,” Mayiga bwagambye.

Bukomeko okulondebwa ku ky’obulabirizi kyaddirira okulondebwa kwabaddae Omulabirizi Dr Steven Kazimba Mugalu nga Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda.

Omulabirizi Dr James Bukomeko

Ono agenda kuddira Ssaabalabirizi Stanely Ntagali mu bigere agenda okuwummula emirimu omwezi ogujja oluvanyuma lw’okuweza emyaka 65 egyassalirwa okubeera omulabirizi.

Mayiga agambye nti omuntu okulondebwa ku kifo ky’obukulembeze aba afunye obuvunanyizibwa bunene obujja n’okusoomoozebwa.

Omulabirizi Bukomeko ne baminisita, Kyewalabye Male asooka ku kkono ne Joseph Kawuki

“Omulabirizi Bukomeko tumulinamu essuubi ddene nti agenda okuyitimusa obulabirizi bw’e Mityana mu by’omwoyo n’omubiri,” Mayiga bwagambye. Agasseeko nti buli webabeera ku nsonga z’eddiini kiba kizibu nnyo obutogera ku Bwa Kabaka, n’ategeeza nti engeri eddiini yaabagoberezi ba Kulisito gyeyajjamu ye yasaawo omukago n’Obwakabaka ng’era kyetaagisa okugukuuma.

Omulabirizi Bukomeko n’omuyuka wa Katikkiro asooka Oweek. Twaha Kigongo Kaawaase

“Obuwangwa n’ennono mu mulembe Omutebi kitegeeza abantu abalina emmere gyebalya abantu abalamu obulungi, abettanira eby’enjigiriza, abantu abalina ke bayingiza , abantu abeeyagalira mu ddembe lyabwe eryo’bwebange, abavubuka abalina emirimu gyebakola. Nina essuubi ddene nti nga Bukomeko yemulabirizi w’e Mityana, omukago oguluubirirwa okukola ebyo gujja kutinta tuzze Buganda ku ntikko,” Mayiga bwagambye.

Omulabirizi ne Katikkiro Charles Peter Mayiga

Ku lulwe, Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ayozaayozezza Bukomeko wamu n’abakulistaayo b’e Mityana olw’okufuna omulabirizi omujja.

Mu bubakabwe obwamusomeddwa Ssaabaminisita Dr Livingstone Ruhakana Rugunda, Museveni, era yasiimye Olukiiko lw’abalabirizi olw’okulonda Dr Bukomeko ng’omulabirizi.

Omulabirizi ne Baminista ba Kabaka eb’enjawulo

“Oweereddwa obuvunanyizibwa bw’okulungamya abantu ba Katonda mu mpisa ennungi wano ku nsi wamu n’okubateekateeka okwefunira Obwakabaka bwa Katonda obutaggwaawo. Nkakasa nti Omulabirizi Bukomeko ajja kutambulira mu buufu bw’abo abamusooka,” Museveni bwagambye

Asabye bannaddiniobutenyigira mu byakulyowa myoyo kyokka kubanga Yesu Kulisito sikyeyasomesa kyokka wabula n’obwetaavu bwa bantu obw’okunsi.

Ssaabalabirizi Ntagli ku kkono ng’ayanjula Omulabirizi Bukomeko

“Nkubiriza ekkanisa okukubiriza abantu okwenyigira mu nteekateeka za gavumenti ezigendereddwamu okugoba obwavu naddala mu maka,” Museveni bweyagambye.

Kululwe, Dr Bukomeko yeeyamye okukolagana obulungi n’abantu bonna e Mityana okusobola okutumbula enkulaakulana wamu n’obumu.

Omukolo gwetabiddwako bannadiini okuva mu nzikiriza ez’enjawulo okwabadde ne Ssabasumba Dr Cyprian Kizito Lwanga.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.