• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Kabaka taggumidde, ebintu bye bikyali mu buwambe-Omulangira Wasajja

Gambuuze by Gambuuze
December 13, 2019
in Amawulire
0 0
0
Kabaka taggumidde, ebintu bye bikyali mu buwambe-Omulangira Wasajja
0
SHARES
66
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Omulangira Wasajja

Musasi waffe

Omulangira David Kintu Wassajja agambye nti Ssaabasajja Kabaka tasobola kukolera bantu be ebyo byonna byeyandyagadde okubakolera ng’ebintubye bikyali mu buwambe. Nga ayogerera ku Bulange ku mukolo ogw’okusiima amaggombolola agasinze okutwala Amakula mu Lubiri, Wasajja yagambye nti abazzaawo Obwakabaka bazzaawo buvunanyizibwa wabula si makubo Obwakabaka mwebwajjanga essente ezabusobozesanga okukola ku biruma abantu ba Kabaka. “Edda Ssaabasajja yalina weyali atoola nga wanene okulabirira abantu be naye ebintu byaffe bikyali mu buwambe era Ssaabasajja tagumidde nga bajjajjaffe bwebaali bakitegese asanyukire munsi ye,” Wasajja bweyategeezezza. Yasiimye nnyo abaami ab’enjawulo olw’okukuuma ennono y’okulabirira Ssaabasajja, n’agamba nti ogwo, gwe mwoyo gwa Buganda ogutafa. “Amaanyi ga Ssaabasajja  gava mu mwe. Waliwo Obwakabaka bungi wano mu Uganda naye tebulina maanyi n’ambavu. Omulimu gwetuliko gwa kuzimba era omutindo gwetutuuseeko gwa waggulu nnyo. Ssaabasajja bwaba tafunye maanyi bulungi n’ebintu byaba akola bibaako webikoma,” Wasajja bweyagambye.

Omulangira David Wasajja ng’akwasa abawanguzi Certificate abasiima

Kululwe, Minisita avunanyizibwa ku Buwangwa, Obulambuzi n’embiri, David Kyewalabye Male naye yasiimye nnyo abaami abenyigidde mu mulimu gw’okukunganya Amakula n’agamba nti ke kabonero akali ebweru akalaga nti okubeerawo kwa Kabaka Abaganda bakusobola. “Waliwo eyagamba nga bazzaawo Obwakabaka nti tubaddizze Kabaka ataliiko kyalina ajja kubakaluubirira bamwegobere naye abaami bano baswazizza oyo eyayogera ebyo kubanga Kabaka bamuyimirizzaawo era beetefuteefu okulaba nga embeera yonna Kabaka gyayitamu nabo bagiyitamu,” Kyewalabye bweyategeezezza.

Yagambye nti akimanyi okukunganya Amakula simulimu mwangu kubanga emirimu gya Kabaka beebinika myebinike. “Olw’okuba muli baamaanyi, mmwe mugyetikka. Buli ggombolola ejja wano ejja n’ente era ekiraalo kya Kabaka  mweziri. Kino kimusobozesa okuyimirizaawo ebintu eby’enjawulo n’omuwanika w’enkuluze n’akendeeza ku nsaasanya kubanga Buganda tewa misolo,” Kyewalabye bweyagambye.  

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist