Musasi waffe
Katikkiro Charles Peter Mayiga n’omukyala Margret Mayiga begasse ku Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ne Maama Nnabagereka Sylvia Nagginda mukuwandiika ennyiriri mu Bayibuli empandiike n’engalo esoose mu Uganda. Aba Bible Society of Uganda, nga bakulembeddwamu omulabirizi we Mukono Rev William James Ssebaggala bakedde ku Butikkiro, amaka amatongole ag’obwakatikkiro okusobozesa Mayiga, omukyala wamu ne Ssabawolereza wa Buganda Oweek. Christopher Bwanika okuwandiika ennyiriri zaabwe. Kabaka yeyasookera ddala okuwandiika ennyiriri ttaano mu suula y’okubikkulirwa [Genesis] munteekateeka eno. Katikkiro awandiise ennyiriri ssatu naye mu ssuula y’okubikkulirwa, ate ye Oweek. Bwanika nawandiika ennyiriri bbiri. Mayiga ategeezezza nti kyetaagisa okuddaabiriza ebintu byaffe ebiba byonoonese tuddemu okubikozesa.
“Ssekabaka Muteesa 1, bweyawandiikira Nnabakyala wa Bungereza ebbaluwa, yalina Katikkiro ne Kabaka aliwo ng’omulimu guno gugenda mumaaso naye alina Katikkiro n’endowooza nti amakage amatongole gaba malungi okukolebwamu omulimu ogwo,” Mayiga bwagambye. Omulabirizi Ssebaggala agambye nti beebaza Katonda olw’okubawa omwaganya okuteekawo ebyafaayo mu Uganda. “Nga tujjukira Muteesa I, waaliwo okwolesebwa eri aba Bible Society abaagamba oluvanyuma lw’emyaka 50 nga bazze mu Uganda batekewo ekyafaayo eky’okuwandiika Bayibuli ng’ewandiikiddwa mumikono gya Bannayuganda, ensi ntono nnyo ezisobodde okukola ekintu kino,” Ssebaggala bwategeezezza. Asiimye nnyo Ssabasajja Kabaka olw’okukkiriza okubeera omuntu eyasooka okuwandiika ennyiriri ezisooka mu Bayibuli okuva ku lusooka okutuuka ku lw’okutaano. Yayongeddeko nti baagala abantu ba Buganda be baba bawandiika essuula y’okubikkulirwa yonna. Buli ayagala, alina eddembe okuwandiika oluvanyuma lw’okuwaayo emitwalo kkumi nga zino zigenda kweyambisibwa mukuzimba ekitebe ekiggya kya Bible Society mu Uganda.