Musasis waffe
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti oyo yenna ayagala okunogera eddaggala okwekalakaasa mu ssentendekero wa Makerere ng’ono yaasinga obunene n’obukadde muggwanga, ateekeddwa okukola kububbi mu gavumenti nga essente ezikunganyizibwa zikola ebyo byeziteekwa okukola. Okwogera bino, Katikkiro yabadde Kansanga ku Church of Jesus Christ Of Latter Day Saints, gyeyagguddewo mu butongole. Ow’omumbuga era yalambudde emirimu egy’enjawulo egikolebwa omuli, okulabirira abaana abato wamu n’okubasomesa eddiini, emisomo eri abavubuka okudda obuggya, ssaako n’okuyamba abo abali mu bwetaavu. Yasiimye nnyo omutandisi w’ekkanisa eno Fred Kamya ggweyayoddeko nti bamanyiganye ebbanga erisukka emyaka 40. “Tubadde ffena mukibuga kino ngatuwagiragana era omukwano gwenina ne Fred ggwegundeese. Okukola emikwano kyangu naye ekisinga obuzibu kugikuuma. Abantu abalinga nze tuba n’emikwano mingi naye betweyabiza tebaba bangi. Abamu mutwagala lwabutaala buno bwetutambuliramu,” Mayiga bweyagambye. Yagasseeko nti musanyufu nnyo okulaba ng’ekkanisa efaayo mukukuuma amaka, naagamba nti amaka amalungi gwemusingi okuzimbirwa eggwanga. “Mulaba ebigenda mumaaso muggwanga leero, buli muntu byasanga byakola era abantu bangi baweddemu ensa. Abantu bangi balowooza nti ekitutusizza wano kubanga ffe abakulembeze tweyisa nga abantu abataakulira mumaka agalimu ensa. Tetulina nsonyi kyov’olaba tetuswala kubba sente zaggwanga oba okutulugunya bantu kubanga amaka gayuuga,” Mayiga bweyagambye. Katikkiro era yavumiridde amadiini agamu ennaku zino agagamba abantu nti bagende mumasinzizo basabe okutuusa obudde okukya mbu bafune obugagga, essente, emmotoka, abakazi, oba mbu bawone siriimu. “Mbiwulira buli lunaku naye katonda tayamba yeyambye? Bwakulaba nga weerwanako akuwa emikisa. Abagoberezi bonna bateekeddwa okuyigirizibwa okuyiiya, ate n’okukolera mubwerufu; tukooye ababbi,” Mayiga bweyagambye.