• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Kabaka asabye abazadde okuyigiriza abaana ebikwata ku bika n’eggwanga lyabwe

Gambuuze by Gambuuze
October 21, 2019
in Agafa e Mengo
0 0
0
0
SHARES
41
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Katikkiro kukkono n’omutaka Gajuule nga baaniriza omulangira Nakibinge mu Lubiri e Mmengo

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi agambye nti Buganda ejja kusobola okuba enywevu singa abaana bava buto nga bayigirizibwa ebikwata ku ggwanga, empisa n’ebika byabwe. Mu bubaka bwatisse omulangira Kassim Nakibinge mu kuggalawo omusomo gw’ennono n’obuwangwa ogutegekebwa Bajjaja Abataka Abakulu b’obusolya, Kabaka yagambye nti eggwanga lyonna okukula lirina okussa ekitiibwa mu buwangwa bwalyo. “Empisa zaffe zituyamba nnyo okuzimba obumu, okwekkiririzaamu awamu n’obukulembeze obulungi. Bwolondoola obulungi abakulembeze batawuliriza nsonga zaabo bebakulembera, abawamba ebintu byabalala, n’okunyigiriza abantu, oyinza okukizuula nti ekyo kisibuka mu maka gyebaakulira,” Kabaka bwagambye. Yagaseeko nti okusobola okunyweza essuubi lya Buganda ey’enkya, essira liteekeddwa okussibbwa  mukunyweza amaka nga abazadde balina omukwano wamu n’enkolagana esobozesa abaana okweyisa obulungi.  “Eno yentandikwa ey’okugunjula abaana abataabe nansonyi kwogera nti basibuka mu Buganda era Baganda. Okwegaana n’okuvuma amawanga abantu mwebasibuka, kivuddeko abantu bangi obuteeguya n’okukola ebikolobero ku bannaabwe, kyetuva tukubiriza abantu ba Uganda nawalala wonna okwenyumiriza mu nsibuko yaabwe. Kino kisoboka singa abantu bava mu maka amalungi era nebakuzibwa bulungi,” Kabaka bweyategeezeza. Omutanda era

yakubirizza abavubuka obutakwatibwa nsonyi wadde okujjibwa ku mulamwa ku nsonga enkulu ezizimba obwakabaka, ebika,

olulimi wamu n’empisa nagamba nti bino byebikola eggwanga.

Omuteregga era yakubirizza Abataka Abakulu ab’obusolya obutakoowa kukubiriza bazzukulu baabwe okwenywereza ku nnono n’ebika ate n’okubikulaakulanya.

“Tuddamu okukiggumiza nti essuubi lya Buganda bebavubuka, abavubuka abakuzibwa mu maka amalungi agalimu essanyu era agagoberera empisa n’ennono, abavubuka abayivu abaagala obwakabaka bwabwe era abatalina nsonyi kwatula nti balina Ebika mwebasibuka era nebagoberera empisa n’obukulembeze bwa Buganda.”

Mu kwogera kwe, Omulangira Nakibinge yasabye Bajjaja Abataka okukunga bazzukulu baabwe okwenyigira mu bukulembeze ku buli mutendera era babawagire mu lwatu oba mu kyama. Yayongeddeko nti era kisaanye Abataka okukubiriza abazzukulu okwenyigira mu buli mulimu gwonna ogusobola okuleeta ensimbi basobole okwetakkuluzaako nnabe w’obwavu. Nakibinge era ku lwa Ssabasajja, yatongozza ekitabo ekyatuumiddwa, ‘Ennambika Entogole kwata ku kwanjula n’okwanjulibwa mu Buganda,’ n’akubiriza abo bonna abasuubura okukola emikolo gy’okwanjula okukyettanira kibasobozese okuddayo ku nnono y’Abaganda. Kululwe, Katikkiro Charles Peter Mayiga yategeezezza nti, abazadde basaana okwewala ebikolwa ebitabangula emirembe mu maka, omuli; obutamiivu, okulwanagana, okuyomba, okumokkola ebigambo nga abaana bawulira n’embeera zonna ezesittaza.

Ate yye omukubiriza wabataka, jjajja Kayiira Gajuule yagambye nti ekigendererwa ky’omusomo kwabadde kwejjukanya n’okukuba ttooci mungeri gyebasobola okunyweza n’okuzza obuggya obuvunaanyizibwa bwabwe nga bagunjula bazzukulu baabwe mu nnono n’obuwangwa byabwe ng’Abaganda.

Yagasseeko nti omusomo gwolese  nti obuluvu, obutabeera beesimbu, okweyagaliza, ate n’okusuula obuvunaanyizibwa byebimu kubireese ebizibu muggwanga.

Omusomo gwaguddwawo Bishop wabasoddokisi atwala amambuka ga Uganda ne Jinja, Silvesto Kisitu, eyategeezezza nti Amaka okubeera amalungi, Katonda alina okuba wakati  muggo.

Abasomesa mu musomo kwabaddeko; Owek Joyce Mpanga, Omutaka Kyaddondo, Owek David Kyewalabye Male, Dr. Anatoli Kiriggwajjo n’abalala.

Omusomo gutambulidde ku mulamwa, “Amaka Agatebenkedde gwe musingi gwa Buganda ey’enkya”.

Era nga ggwetabiddwamu, Namasole Margaret Siwoza, Ssaabaganzi, Bakatikkiro abaawummula Dan Muliika ne Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere, Minisita w’amawulire, olukiiko, kabineeti, abagenyi era omwogezi w’obwakabaka, Noah Kiyimba, Abalangira n’abambejja, abaweereza b’obwakabaka ku mitendera egy’enjawulo n’abakungu abalala bangi.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.