• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Kamalabyonna Mayiga  atenderezza Ssaalongo Matte Robert Sseriso olw’okukwata ku balala nabayimusa

Gambuuze by Gambuuze
December 23, 2024
in Amawulire
0 0
0
Kamalabyonna Mayiga  atenderezza Ssaalongo Matte Robert Sseriso olw’okukwata ku balala nabayimusa
0
SHARES
21
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Shafik Miiro

Kansanga – Kyaddondo

Katikkiro Mayiga agamba nti okukula mu myaka si ky’ekikulu mu bulamu, wabula omuntu byakola eri abantu n’Ensi ye, bye bisalawo oba okukula kwe kulina amakulu.

Obubaka buno abuwadde yeetabye mu kusaba kw’okwebaza olw’obulamu bwa Ssaalongo Matte Robert Sseriso e Kansanga mu Kyaddondo ku Ssande.

 Mukuumaddamula Mayiga asoomezeza abantu abajaguza amazaalibwa buli mwaka oguyitawo naye nga bwe weekenenya bwe bigasizza bannaabwe nga tebalina wadde. Akikaatirizza nti okukula kw’omuntu okusinziira kw’ebyo byakola.

Katikkiro yebazizza omujaguza Robert Sseriso olw’okubeera n’omukwano ogwannamaddala era ogw’ebikola okwawukanako n’abantu bangi bagambye nti babeera n’emikwano egy’obukuusa nga ebyabwe bikomamu bigambo. Atenderezza Sseriso olw’okubeera omukozi, omuzadde omulungi ate omusajja omwesigwa.

Omukolo gwatandise n’ekitambiro ky’ emmisa ekyakulembeddwamu Ssaabasumba Paul Ssemogerere, era yasinzidde wano naasaba  abakristo bulijjo okwesigamanga ku Katonda mi nsonga zonna olwo naye asobole okubatuusa ku buwanguzi.

Ssaabasumba akulisizza Sseriso okutuuka ku kkula ery’emyaka 60, n’amwebaza olw’okwagala Ekelezia n’abaweereza ba Katonda ate n’ayagala nnyo n’emikwano gye, amusabidde Katonda ayongere okumukozesa eby’ettendo.

Omujaguza Ssaalongo Matte Robert Sseriso yebazizza Katonda olw’okumuwa ekitabo ky’obulamu, n’amwebaza n’olw’emikwano gy’amuwadde gy’agambye nti gimuwaniridde nnyo mu bulamu bwe. Yebazizza buli muntu aliko ky’amuyambye mu bulamu bwe, era asuubiza okwongera okubeera n’enkolagana ennungi n’abantu.

Abooluganda n’Abemikwano gya Sseriso buli omu amwogerako birungi byerere naye okusingira ddala omukwano ogwannamaddala gw’alaga buli amuli okumpi.

Omukolo gwetabiddwako  Nnaalinya Sarah Kagere ne bba Owek. Bbaale Mugera wamu n’Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa n’Omukyala, Abakungu mu bitongole by’Obwakabaka ebitali bimu, bammemba ba bagagga kwagalana, Bannaddiini, Abasuubuzi abatutumufu abooluganda n’emikwano bonna ababaddewo okwebaza Katonda n’okujagulizaako Ssaalongo Sseriso okutuuka ku kkula lino.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist