• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga akuutidde abakwatibwako okulabirira obulungi abakyala abali embuto

Gambuuze by Gambuuze
December 17, 2024
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga akuutidde abakwatibwako okulabirira obulungi abakyala abali embuto
0
SHARES
73
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Gerald Mulindwa

Bulange – Mmengo

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga akuutidde abantu abavunaanyizibwa ku bakyala abali embuto okubalabirira obulungi kiyambe abaana okubeera abalamu obulungi awamu n’okukendeeza ku mitawaana mu maka.

Bino Katikkiro abyogeredde Mulago ku Mulago Specialised Women and Neonatal Hospital, eddwaliro erijjanjjaba abakyala endwadde ez’enjawulo bw’abadde alilambula ku Lwokusatu okulaba emirimu bwegitambula.

Owek. Mayiga agamba nti bamaama be balabirira abaana ne  ba taata nga balwadde, buli obulamu bwa Maama bwe bufiibwako, mu maka wabaawo obulamu obulungi n’okugenda mu maaso.

Ono era yeebazizza  Gavumenti olw’okuzimba eddwaliro lino, wabula n’asaba liteekebwemu ebyuma n’ebintu ebikozesebwa mu malwaliro kubanga omuwendo gwa bannayuganda guli waggulu era bangi bwe bagenda mu malwaliro tebafuna bujjanjabi bumala nekireetawo okwemulugunya.

Katikkiro Mayiga akubidde  Gavumenti omulanga okusasula obulungi abasawo kubanga kiswaza e ggwanga abasawo okwekalakaasa lwa musaala, kikulu bafiibweko wamu n’abasomesa kubanga be bakwatiridde obulamu bw’abantu.

Avumiridde abasawo ababba eddagala era naasaba Gavumenti eveeyo n’omukono ogwekyuma kubanga abantu bwebati bazza eggwanga emabega.

Katikkiro agamba nti ng’Obwakabaka bulina okwongera eddoboozi ku lya Ssaabasajja Kabaka mu kisaawe ky’ebyobulamu, okukubiriza bamaama okugenda mu basawo nga bali mbuto, okugema abaana, okuwa abaana emmere erimu ekiriisa ekizimba omubiri, okukubiriza abasajja okuwerekera bakyala baabwe mu malwaliro.

Akulira eddwaliro lino, Dr. Evelyn Nabunnya, ategeezezza nti baagala okussaawo omukago n’Obwakabaka okulaba nga abakyala bettanira eddwaliro lino bafune obujjanjabi obujjudde obulungi.

 Ye Minisita avunaanyizibwa ku by’obulamu n’enkulaakulana y’Abantu mu bwakabaka, Oweek. Choltilda Nakate Kikomeko, ategeezezza nti nga Minisitule yebyobulamu, balina okutwala omutawaana ogwokuteekerateekera abantu eby’obulamu ebiri ku mutindo era okutuukiriza kino, balina okwekwata ku bakugu mu kisaawe kyeby’obulamu nga bano aba Mulago Specialised Women and Neonatal Hospital, abajjayo ekifaananyi ekituufu ku by’obulamu mu kiseera kino nga n’obwakabaka buli mu kaweefube wa kumaliriza kuzimba malwaliro mu Masaza ag’enjawulo, waliwo essuubi nti bwe wabaawo enkolagana kijja kwanguyiza obwakabaka okukola amalwaliro agali ku mutindo ogwetaagisa.

Share this:

  • Twitter
  • Tumblr
  • Pinterest
  • Pocket
  • WhatsApp
  • Skype
  • Telegram
  • LinkedIn
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.