
Bya Gerald Mulindwa
Bulange – Mmengo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga akuutidde abantu abavunaanyizibwa ku bakyala abali embuto okubalabirira obulungi kiyambe abaana okubeera abalamu obulungi awamu n’okukendeeza ku mitawaana mu maka.
Bino Katikkiro abyogeredde Mulago ku Mulago Specialised Women and Neonatal Hospital, eddwaliro erijjanjjaba abakyala endwadde ez’enjawulo bw’abadde alilambula ku Lwokusatu okulaba emirimu bwegitambula.
Owek. Mayiga agamba nti bamaama be balabirira abaana ne ba taata nga balwadde, buli obulamu bwa Maama bwe bufiibwako, mu maka wabaawo obulamu obulungi n’okugenda mu maaso.
Ono era yeebazizza Gavumenti olw’okuzimba eddwaliro lino, wabula n’asaba liteekebwemu ebyuma n’ebintu ebikozesebwa mu malwaliro kubanga omuwendo gwa bannayuganda guli waggulu era bangi bwe bagenda mu malwaliro tebafuna bujjanjabi bumala nekireetawo okwemulugunya.

Katikkiro Mayiga akubidde Gavumenti omulanga okusasula obulungi abasawo kubanga kiswaza e ggwanga abasawo okwekalakaasa lwa musaala, kikulu bafiibweko wamu n’abasomesa kubanga be bakwatiridde obulamu bw’abantu.
Avumiridde abasawo ababba eddagala era naasaba Gavumenti eveeyo n’omukono ogwekyuma kubanga abantu bwebati bazza eggwanga emabega.
Katikkiro agamba nti ng’Obwakabaka bulina okwongera eddoboozi ku lya Ssaabasajja Kabaka mu kisaawe ky’ebyobulamu, okukubiriza bamaama okugenda mu basawo nga bali mbuto, okugema abaana, okuwa abaana emmere erimu ekiriisa ekizimba omubiri, okukubiriza abasajja okuwerekera bakyala baabwe mu malwaliro.
Akulira eddwaliro lino, Dr. Evelyn Nabunnya, ategeezezza nti baagala okussaawo omukago n’Obwakabaka okulaba nga abakyala bettanira eddwaliro lino bafune obujjanjabi obujjudde obulungi.

Ye Minisita avunaanyizibwa ku by’obulamu n’enkulaakulana y’Abantu mu bwakabaka, Oweek. Choltilda Nakate Kikomeko, ategeezezza nti nga Minisitule yebyobulamu, balina okutwala omutawaana ogwokuteekerateekera abantu eby’obulamu ebiri ku mutindo era okutuukiriza kino, balina okwekwata ku bakugu mu kisaawe kyeby’obulamu nga bano aba Mulago Specialised Women and Neonatal Hospital, abajjayo ekifaananyi ekituufu ku by’obulamu mu kiseera kino nga n’obwakabaka buli mu kaweefube wa kumaliriza kuzimba malwaliro mu Masaza ag’enjawulo, waliwo essuubi nti bwe wabaawo enkolagana kijja kwanguyiza obwakabaka okukola amalwaliro agali ku mutindo ogwetaagisa.