
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga ayozaayozezza omutaka w’emmamba omuggya Omutaka Ali Mubiru Zziikwa, Gabunga Omubbulukuse, olw’okudda mu bigere bya kitaawe, Gabunga Omubuze era naasaba abazzukulu okuteeka amaanyi ku butaka basobole okuggyayo amaanyi g’Ebika byabwe.
Omukolo guno guyindidde mu Bulange e Mmengo ku Mmande era Kamalabyonna Mayiga ategeezezza nti obuyinza bw’omukulu w’Ekika buva wa Ssaabataka era bwatyo wakumumwanjulira mu bwangu ddala.
” Obuyinza bw’Omukulu w’Ekika mu Buganda buva wa Ssaabataka, era Gabunga Omubbulukuse nja kumwanjulira Nnyinimu. Nkusaba okutambulira mu buwufu bwa Maasomoogi; okukumaakuma bazzukulu bo; n’okukulaakulanya Ekika,” Ow’omumbuga Mayiga bw’annyonnyodde.
Owek. Mayiga akubirizza ab’ Amasiga, ab’Emituba abeetuukira okuwagira Owakasolya baleme kumwesuula kubanga bulijjo obukulembeze bwetaagamu empagi ekikwata ali waggulu wakati mukugoberera ennono kubanga eno ye Ssemateeka wa Buganda.
Ono ategeezezza nti Ebika bibaawo mubuli mbeera omuli embaga, okufiirwa bwatyo naasaba abantu okumanya nti Ebika kwekwesigama obulamu bw’omuganda era wano asabye enkizo eno erabikire ku butaka bubeere n’ amaanyi.

Kamalabyonna Mayiga akuutidde Katikkiro w’Ekika okubaawo n’enteekateeka ey’Ebyenfuna ezingiramu abavubuka basobole okugasa Ekika kyabwe ate nabo bafune emirimu.
Abasabye obuteerabira mutimbagano naye bagukozese okugulawo ebibanja era banyweze obumu olwo Buganda edde ku ntikko.
Katikkiro w’Ekika ky’ Emmamba, Gerald Kyobe ategeezezza nti omulimu agutambuza bulungi okutuuka ku kadde kano era buli kimu kikoleddwa mu butuufu.
Minisita w’Obuwangwa n’Ennono, Dr. Anthony Wamala agamba nti ebikwata ku Bika byetaaga okuwandiikibwa era amaanyi gateekebwe ku kunnyonnyola ennono ekwata ku kulya obutaka bw’Akasolya kikendeeze ku budde obutwalibwa mu nteekateeka eno.

Dr. Wamala yeebazizza ba Katikkiro akuliddwamu Katikkiro Lutuuma olw’okutambuza enteekateeka eno.
Katikkiro Lutuuma asinzidde wano nategeeza nti Gabunga Omubuze ajja kutwalibwa e Kabowa gyagenda okusula ate enkeera ku Lwokubiri ku makya agende mu Kkanisa e Jjungo ate asule e Sagala Buwaya ate aterekebwe ku Lwokusatu ku ssaawa 8









