
Bya Francis Ndugwa ne Shafik Miiro
Bulange – Mmengo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asabye Ebika mu Buganda bulijjo okugoberera ennono zaabyo ezibirambika ku bukulembeze ku mitendera egy’enjawulo era n’abazzukulu baabyo bakimanye nti eby’obukulembeze mu Bika tebibeera bya kwegwaniza oba kulwanira ng’ abamu bwebalowooza.
Obubaka buno Kamalabyonna Mayiga abuweeredde mu nsisinkano gy’abaddemu n’Abaamasiga n’Abeemituba Egyeetuukira (ku Kasolya) mu Kika kye Mmamba Nnamakaka ku Lwokutaano e Bulange e Mmengo nga bamwanjulira ekiraamo kya Gabunga Omubuze Mubiru Zziikwa owa 37 eyabuze gyebuvuddeko.
“Ssemateeka wa Buganda y’ ennono era ennono tebaamu byakirwanire, tebaamu kweyagaliza wadde okwesooka. Ennono erondoolwa n’okunyweza bajjajjaffe kyebalaba eky’ amakulu,” Katikkiro Mayiga bw’annyonnyodde.
Ono agamba nti wadde waliwo ennono eyawamu eya Buganda naye buli Kika kibeera n’ennono yaakyo kwekitambuliza ensonga z’obukulembeze ku Kasolya, Amasiga, Emituba n’emitendera egiddirira era obukulu tebuweebwa basinza bitabo wadde abalowooza nti bakitalo.

Kamalabyonna ategeezezza nti Ekika ky’Emmamba kikulu nnyo mu Buganda era bangi abakirinako akakwate kuba yali nsaale ku ntandikwa y’olubu lwa Kintu era wano asabye ab’Ekika kino okukkiriza byonna ebinaasalibwawo kubanga Beene ayagala ensonga zino ziggwe bulungi.
Abakulu bano era bategeezezza Kamalabyonna Mayiga nga Gabunga omuggya bwajja okwanjulibwa eri Obuganda ku bbalaza nga 25, Museenene, 2024 era nga buli kimu ekyetoolera ku nteekateeka eno bwekyawedde edda okukolwako.
Okusinziira ku nteekateeka ono bwanamala okwanjulwa eri Obuganda, olwo Kamalabyonna naye ajja kumwanjulira Ssaabataka ng’ennono bwerambika.

Bino webijjidde ng’ enteekateeka z’okutereka Gabunga omubuze zikyagenda mu maaso nga zino zikuliddwamu Omutaka Kidimbo Grace Bakyayita era ono eggulo yakakasizza nti mukunoonya Gabunga omuggya bagoberedde buli kalombolombo era akakiiko kano kakulemberwa Kato Lutuuma era alina obuvunaanyizibwa okulaba nti buli kimu kitambula bulungi.









