• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Minisita Kakomo asabye abazadde okukozesa oluwummula balambike abaana mu mpisa

Gambuuze by Gambuuze
November 12, 2024
in Agafa e Mengo, Amawulire
0 0
0
Minisita Kakomo asabye abazadde okukozesa oluwummula balambike abaana mu mpisa
0
SHARES
121
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Shafik Miiro

Bulange – Mmengo

Minisita avunaanyizibwa ku bulimi n’obweggasi mu Bwakabaka, Owek. Amis Kakomo asabye abazadde okukozesa oluwummula luno balambike abaana babwe mu mpisa bafune ebiseera by’omu maaso ebitangaavu.

Owek. Kakomo bino abyogedde akiikiridde Kamalabyonna Charles Peter Mayiga mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri okutikkula oluwalo lwa bukadde 39  okuva mu  Bannakyaddondwa ne Kyaggwe omuli n’Abaana b’amasomero .

“Nsanyuse okulaba abakulu b’amasomero abakoze enteekateeka okulaba ng’abaana nabo bakiika Embuga mu nkola eya luwalo lwaffe, twagala abaana bano bayige ebintu nga bukyali, bamanye ennono, n’obuwangwa byaffe era mubibaagazise bulijjo” Owek. Kakomo.

 Minisita Kakomo  asabye abazadde okuteekateeka obulungi abaana nga bukyali kubanga be bajja okutambulirako ebiseera by’Eggwanga eby’omumaaso.

Yeebaziza Abakulu b’amasomero abagunjula abaana Ekiseera ekinene kye bamala mu Ssomero, n’akuutira abazadde nabo batuukirize ekkatala lyabwe ng’abaana bazzeeyo ewaka mu luwummula.

Owek. Kakomo akubirizza abantu ba Buganda obutassa mukono ku nsonga y’okulima emmwanyi ng’agamba nti k’ebeere mbeera ki, emmwanyi teziggya kubulwa katale kasita zirimibwa era ne zirabirirwa bulungi.

Ye Minisita Noah Kiyimba akiikiridde Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu Joseph Kawuki, akubirizza Abaami okwongera okugoberera okulambika okuva mu Minisitule ya Gavumenti ez’Ebitundu mu Buganda basobole okutambuza emirimu obulungi era mu bwerufu, olwo batuuse obuweereza ku bantu ba Kabaka bonna.

Owek. Kiyimba annyonnyodde nti ensonga z’Obwakabaka zikwata ku buli muntu neyeebaza abaleese Oluwalo okuwagira emirimu gya Beene.

Abazadde abalabudde  abazadde ku kutiitiibya abaana nga bakiyita okubalaga omukwano naabasaba okubayigiriza emirimu era babalambike ku nkozesa y’omutimbagano entuufu.

Omumyuka Asooka owa Kaggo, Omw. Bakulumpagi Ronald ng’omugabe w’abakiise Embuga ategeezezza nti okukiika Embuga, kabonero akalaga nti ddala Buganda esobolera ddala okwekolera ku nsonga zaayo singa eweebwa Federo, era nti enkola ya luwalo lwaffe ennyikiza ensonga ya Federo ey’ebikolwa, bwatyo yebazizza abantu ba Buganda olw’okujjumbira oluwalo era abasabye obutassa mukono wabula bongeremu amaanyi.

Eggombolola ezikiise Embuga kuliko Mutuba IV Masekkati, Ssaabagabo Lufuka, ne Ssaabawaali Gombe mu Kyaddondo wamu ne Mut. III Kyampisi mu Kyaggwe .

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.