
Bya Ssemakula John
Lubiri – Mmengo
Omulangira Felix Muteesa asabye abantu ba Kabaka okuvaayo basimbire ekuuli bannakigwaanyizi abeesomye okuvvoola n’okutyobola ekitiibwa kya Namulondo.
Bino Omulangira Felix abyogeredde mu Lubiri e Mmengo bw’abadde ayaniriza Amakula ga Kabaka agavudde mu ggombolola ya Mumyuka Busimbi e Ssingo ku Lwokusatu.
Omulangira Muteesa agamba nti waliwo abantu abalabika nga balina akakuku ku Buganda nga bwekityo batandise okubasindikiriza obutasonyiwa buli kimu.
“Abaganda tusonyiwa naye abantu abamu ndowooza tubeerabire ate ndowooza tetujja kusonyiwa buli kimu. Twegendereze nnyo betusenza mu Buganda. Omuntu nga tayagala Buganda nga tayagala Kabaka we, Abaganda tetumusembeza” Omulangira Muteesa bw’annyonnyodde.
Katikkiro w’Ebyalo bya Kabaka, Omuk.Moses Luutu asinzidde wano naasaba abaweereza b’Obwakabaka okwongera okwagazisa abantu ba Beene enteekateeka z’Obwakabaka mu ngeri yonna esoboka.
Omuk Robert Sewava akulira olubiri lwe Mmengo akalaatidde abantu ba Buganda obutabongotera mukusimba kirime kya mmwanyi kubanga kiyimirideko ebiseera eby’omu maaso ebigumivu.
Omwami we Ggombolola ya Mumyuuka Busimbi mu Ssingo, Sendikadiwa David ayogedde ebimu kubyebatuseeko neebisomoza ebibalobera okukola obuweereza bwa Beene.









