Bya Musasi Waffe
Kyaggwe
Omwami wa Kabaka amulamulirako essaza Kyaggwe, Ssekiboobo Vincent Matovu atabukidde abeefunyiridde okuvvoola ekitiibwa kya Nnamulondo era nakunga bannakyaggwe okutandika okubaboola mu ngeri yonna esoboka.
Ssekiboobo Matovu obubaka buno abuweeredde mu lukiiko lw’essaza olutudde ku Lwokuna ku kitebe ky’essaza okukuba ttooci mu ntambula y’emirimu n’okulaba bwebasobola okumegga Buddu bawangule amasaza.
Owek. Matovu ategeezezza nti buvunaanyizibwa bwabuli muntu mu Buganda okutaasa n’okukuuma ekitiibwa kya Nnamulondo nga bwekityo buli ekikwata ku Kabaka ne Buganda balina okusitukiramu.
Mu ngeri yeemu olukiiko lusiimye Omwami wa Kabaka ow’ekyalo Lweza, Mw. Ssendi Joackim olw’obuvumu bweyayolesa bweyatabukira Minisita Sam Mayanja olw’okuvvoola ekitiibwa kya Nnyinimu.
Ssekiboobo ategeezezza abakiise nti waakutuuzibwa omwezi guno nga 31/10/2024, era n’asaba Bannakyaggwe bonna okujja mu bungi basobole okuweesa omukolo ekitiibwa.
Bannakyaggwe era beebazizza nnyo Ssaabasajja Kabaka olw’okusiima omukolo gwa Bulungibwansi ne Gavumenti ez’Ebitundu mu Ggombolola ya Mutuba V Nyenga mu kyaggwe nebawera okwongera enkola eno mu maaso okutumbula obuyonjo.
Olukiiko lwetabiddwamu abakiise mu lukiiko lwa Buganda, n’abantu ba Kabaka abalala.