Bya Ronald Mukasa
Mmengo – Kyaddondo
Ekitongole ki Kabaka Foundation kisse omukago nekya Heifer International okutumbula embeera z’abantu mu Buganda wamu n’okutaasa Obutonde bw’ensi nga bayita mukubunyisa Amasanyalaze ag’amaanyi g’enjuba.
Omukolo guno guyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri nga Ssenkulu w’ekitongole kino, Omuk. Kaggwa Ndagala yataddeko omukono kulwa Buganda ate William Matovu nateekako kulwa Heifer International era Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek Patrick Luwaga Mugumbule yajulidde kulwa Katikkiro Charles Peter Mayiga.
Owek. Mugumbule ategeezezzza nti Beene amaze ekiseera ng’ atakabanira okutumbula embeera z’ abantu be nga ayita mu kawefube ow’enjawulo nga okutumbula obulimi bw’emmwaanyi era enkolagana ne bannamukago aba Heifer International Uganda, yakwongera amaanyi mukaweefube wa Beene ono.
Omukago guno gwakumala emyaka 3 nga Obwakabaka n’ebitongole ki Heifer International bagende kutondawo ennimiro ez’okuyigirwako ku buli ssaza ziyite (Demonstration Farms) nokuwa abantu ente saako nokubunyisa amasanyalaze agamaanyi g’enjuba.
Enteekateeka eno egenda kuvujirirwa ekitongole ki Mott Foundation okuva muggwanga lya Amerika nga kino kikiikiriddwa omumyuka w’omukulembeze wakyo Neal Hegarty abaddewo ng’omujjulizi ng’enjuyu zombi zissa emikono ku ndagaano eno.
Owek Mugumbule ategeezezza nti Obwakabaka busanyukidde enteekateeka y’okubunyisa amasanyalaze agamaanyi g’enjuba nategeeza nga kino bwekigenda okuyambira ddala okutaasa obutonde bw’ensi.
Neal Hegarty okuva mu Mott Foundation ategeezeza nga bwebatandiika emirimu gy’ekitongole kyabwe ku mulirwano muggwanga lya Tanzania mu mwaka gwa 2015, nga bateeka essira ku nsonga ezenjawulo, omuli Obutonde Bw’ensi, ebyenjgiriza eby’omutindo, ebyenfuna n’ebirala nga bayita mu kukolera awamu nebitongole ebirala bwebafaanaganya okwolesebwa nga Heifer International Uganda.
William Matovu okuva mu kitongole Kyi Heifer International agamba nti enkolagana ne Kabaka Foundation egandereddwamu okutumbula embeera z’abantu abasookerwako abali mu bulimi nobulunzi okulaba nga basobola okukyusa embeera z’obulamu bwabwe.
Ensisinkano eno yetabiddwamu Ssaabawolereza w’Obwakabaka Owek. Christopher Bwanika, Minisita w’Obulimi Obulunzi n’Obuvubi Owek Hajji Amis Kakomo, Amb. William Matovu n’abalala bangi.