• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Abeddira Ekiwere bafunye Luwonko omuggya, ayanjuddwa eri Katikkiro

Gambuuze by Gambuuze
September 23, 2024
in Agafa e Mengo
0 0
0
Abeddira Ekiwere bafunye Luwonko omuggya, ayanjuddwa eri Katikkiro
0
SHARES
17
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ronald Mukasa

Mengo Kyaddondo

Omukulu w’Ekika kye Kiwere, Luwonko Omubbulukuse, Alexander Basajjabaka Sserwadda ayanjuddwa eri Katikkiro Charles Peter Mayiga olunaku lwa leero oluvannyuma lw’okuyita mu mitendera egimukakasa ku bukulu buno. Ono azze mu bigere bya Kitaawe, Luwonko Omubuze, James Mbaale Zzamuwanga era ayanjuddwa Katikkiro w’Ekika, Kyazze Appolo Mbaale.

Nga asinziira ku Mbuga y’Obwakabaka enkulu e Bulange Mengo ewabadde enteekateeka eno, Kamalabyonna Charles Peter Mayiga annyonnyodde obukulu bw’okuzuula omutaka mu bwangu singa ali mu bukulu buno abula, bwategezeezezza nti kiyamba Ekika obutabeererawo ate n’ekiggyayo n’amakulu g’ennono n’obuwangwa bw’abaganda. Wano wasinzidde neyeebaza abenyigidde mu nteekateeka z’okufuna Omutaka Luwonko omuggya, wamu n’abakola ku nteekateeka z’okutereka Luwonko omubuze

Ow’omumbuga asibiridde Omutaka Luwonko Omubbulukusse entanda y’okuweereza Nnyinimu n’okukumaakuma bazzukulu be okubeera obumu ate nga bawulize eri Nnamulondo kwossa obutasuulirira buwangwa na nnono. Mu ngeri yeemu ono amusabye okwetaba ku mikolo gy’Ekika,  ogy’Obwakabaka n’obutesamba nsisinkano z’Abakulu ba Busolya emirimu gye gimwanguyire.

Mukuumaddamula akalaatidde abakulembeza bw’Ekika okukwatizaako Luwonko omuggya mu buweereza bwe nga bamuyambako mu nteekateeka z’okukulaakulanya Ekika n’okukinyweza. Bano abasabye okulondoola n’okukuuma ebiwandiiko by’Ekika okusobola okubimanyisa abaliddawo mu biseera ebijja.

Ku lwa minisita ow’Ebyobuwangwa n’Ennono, Owek. Dr Anthony Wamala,  Minisita w’Enkulakulana y’Abantu n’Ensonga za woofiisi ya Nnaabagereka Owek. Chotilda Nakate Kikomeko abakubirizza ab’Ekika ky’Ekiwere okukuuma ettaka ly’Ekika n’okunyweza eby’enkulakulana okuli eby’ensoma n’ebyobulamu basobole okwongera amaanyi mu Kika kino. Owek. Nakate akkaatirizza ebigambo bya Katikkiro eby’okuwandiika ebikwata ku Kika n’okukuuma ebiwandiiko biyambe abaliddawo

Okusinziira ku Katikkiroo w’Ekika ky’Ekiwere, Kyazze Appolo Mbaale , Omutaka Omubuze agenda kuterekebwa ku Lwokusatu lwa sabbiiti eno nga 25 ku butakka bw’Ekika e Kasiniina mu Ssingo. Wabula ono ategeezezza nti ajja kusooka kusabirwa mu Kanisa ya St Gideon e Mukono mu Kyagwe enkya ku Lwokubiri omubiri balyoke bagwolekeze ku butaka.

Enteekateeka y’okwanjula Omutaka Luwonko yatabuddwamu Minisita w’Amawulire, Okukunga era omwogeezi w’Obwakabaka Owek. Israel Kazibwe Kitooke, abakulembeze ab’enjawulo mu Kika ky’Ekiwere n’abalala bangi.

 awo, era agamba nti kino kikolebwa mu kugoberera ennambika y’Ekika ekyo ekiba kiviiriddwako ow’Akasolya. Bwatyo yeebaziza bonna abenyigidde mu nteekateeka z’okufuna Omutaka Luwonko omuggya, wamu ng’abakola ku nteekateeka z’okutereka Luwonko omubuze.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.