Bya Shafik Miiro
Nakwero
Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde mutabani wa Sir Prof. Gordon Wavamunno, Joe Kayima Wavamunno eyafiira mu ggwanga lya Thailand ku Lwomukaaga lwa Ssabbiiti ewedde bweyasirittuka n’agwa mu kinaabiro era ng’ono aziikiddwa olwaleero. Joe Wavamunno e Thailand yali agenzeeyo ne mukyala gweyali atutte okujjambwa.

Obubaka obw’okusaasira okuva Embuga Katikkiro Charles Peter Mayiga abitisse Omumyuka we Owokubiri, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa nga mu bubaka buno, omugenzi asiimiddwa olw’okukola obutaweera ate n’obukugu mu kutambuza ebitongole eby’enjawulo Kitaawe bye yatandikawo. Kamalabyonna era yeebaziza Omutonzi olw’obulamu bwawadde Joe Kayima ne by’amusobozesezza okukola mu kiseera ky’amaze ku nsi. Mu ngeri yeemu, Katikkiro yebazizza Prof. Wavamunno olw’okusiga mu baana be ensigo ey’obukozi n’okubaagazisa ensi yabwe Buganda ne Uganda okutwaliza awamu

Mu ngeri ey’enjawulo, Mukuumaddamula asaasidde Omutaka w’Ekika ky’Ente, Katongole olw’okuviibwako muzzukulu we abadde ow’omugaso era naasaasira ab’oluganda lw’omugenzi bonna olw’okusomoozebwa kwebayitamu.
Ku lulwe, Owek. Nsibirwa asaasidde nnyo Prof. Wavamunno olw’okuviibwako omwana era namukwasa Katonda amugumye. Wano wasinzidde neyeebaza Prof. Wavamunno olw’emirimu emingi gyakoledde Obwakabaka ate n’akisiga ne mu baana be. Owek. Nsibirwa era yebazizza Prof. Wavamunno olw’okutumbula olulimi Oluganda nga ayita ku ttivi ye eya WBS mu biseera ng’ekyali ku mpewo.


Omukolo gw’okuziika Joe Kayima gwetabiddwako, Nnaalinya Lubuga Agnes Nabaloga, Nnaalinya Sarah Kagere, Omulangira David Kintu Wasajja, Owek. Hajj Ahmed Lwasa, Owek. Christopher Bwanika, Oweek. Daudi Mpanga, Owek. Mutaasa Kafeero, Abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo, abakulembeze mu Gavumenti eyawakati, n’abakungu abalala bangi.









