• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga atenderezza Prof. Wavamunno olw’obuyiiya n’obuwulize eri Nnamulondo

Gambuuze by Gambuuze
September 10, 2024
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga atenderezza Prof. Wavamunno olw’obuyiiya n’obuwulize eri Nnamulondo
0
SHARES
48
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Gerald Mulindwa

Nakwero- Kyaddondo

Katikkiro Charles Peter Mayiga atenderezza omusiime wa Beene, Sir Gordon Wavamunno olw’okubeera omuyiiya, omutetenkanya era omuwulize eri Nnamulondo n’Obwakabaka ekiseera kyonna.

Okusiima kuno Kamalabyonna      Mayiga akulaze akulembeddemu Kabineeti y’Obwakabaka okusisinkana Prof. Wavammuno mu makaage e Nakwero mu Wakiso ku Lwokubiri.

Kamalabyonna Mayiga era yeebazizza Omusiime Wavamunno olw’okugabana amagezi n’abantu abalala nga ayita mu kuwandiika ebitabo n’okubuulirira abantu ku ngeri gyebalina okukwatamu ebyenfuna.

Ow’omumbuga annyonnyodde nti Wavamunno y’omu ku bantu abawagira emirimu gy’Embuga amangu ddala nga Obwakabaka bwakaddawo era n’okutuuka olwaleero kino akyakikola ng’eno yeemu ku  nsonga lwaki Nnyinimu yasiima naamuwa ejjinja ery’omuwendo mu 2017.

Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa yeebazizza Prof. Wavamunno olw’okuwabula kwazze abawa ku byenfuna

Wano Owek.  Nsibirwa asomoozezza abeeyita ba “consultant” kyokka nga tebalina yadde webalimira awooleka eky’okulabirako kwekyo kyeboogerako mu bukugu bwabwe, kyokka abantu nga Wavamunno bebuuzibwako era bawa abantu amagezi ku bwereere ate nga bamanyi kyebakola.

Ye Prof. Gordon Wavamunno, alambululidde abagenyi be gyenvudde we n’engeri gyazze atambuzaamu obulamu bwe n’okutuuka ku birungi byatuuseeko okuli eby’obugagga n’Ebitiibwa.

Wavamunno era abalambuzza ekkolero ly’amazzi ga Wava Water n’ebyenkulaakulana ebirala okuli, eddundiro ly’Ente n’ebisolo by’Awaka, ennimiro ez’ebibala n’emmere eriibwa, etterekero ly’ebitabo wamu n’ekkaddiyizo  ku bulamu bwe ng’omuntu n’ebirala.

Mu kulambula kuno Kamalabyonna awerekeddwako Sipiika Luwaga Mugumbule, Minisita Nsibirwa, Minisita Mayanja Nkalubo, Minisita Noah Kiyimba,  Minisita Anthony Wamala, Owek. Amis Kakomo, Owek. Christopher Bwanika wamu n’abakungu abalala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist