• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Enkulaakulana etandikira mu maka omuli abakolera awamu – Minisita Kazibwe Kitooke

Gambuuze by Gambuuze
September 2, 2024
in Amawulire
0 0
0
Enkulaakulana etandikira mu maka omuli abakolera awamu – Minisita Kazibwe Kitooke
0
SHARES
264
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Shafic Miiro

 Masaka – Buddu

Minisita w’Amawulire n’Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka Oweek. Israel Kazibwe Kitooke akubirizza abantu ba Buganda okunyweza obumu okuviira ddala mu Maka gaabwe okusobola okwekulaakulanya.

Obubaka buno, Owek. Kazibwe abuweeredde mu maka g’Omugenzi Yozefu Kalemba Ssajjabbi, bazukkulu ba Mbaziira okuva mu lunyiriri lwa Mungi abeddira Nnyonyi Nnyange mukumanyagana kwebabadde nakwo e Masaka mu Buddu.

Minisita Kitooke  avvumiridde okweyawulawula okususse ensangi zino, ky’agambye nti kikosa enkulaakulana olwa buli omu okusigala ku lulwe, ne watabaawo kuwabulaŋŋana.

Ono era asabye abantu okutambulira mu buufu bwa Ssaabasajja nga bw’azze akubirizza Obumu mu bantu be, babunyikize okuviira ddala mu maka, mu Bika, ku Byalo na buli kimu kye bakola okusobola okwekulaakulanyiza awamu.

Ye Katikkiro w’Ekika kya Nnyange, Omutaka Kato Lutuuma Fenekansi asinzidde wano n’akubiriza abazzukulu obutetundako ttaka, wabula balikozese okwekulaakulanya naddala nga bajjumbira okulima emmwanyi ng’enteekateeka y’Obwakabaka bw’erambika.

Minisita wa Kabineeti Olukiiko n’Ensonga ez’enjawulo mu woofiisi ya Katikkiro era  nga mujjwa mu lujja luno, Owek. Noah Kiyimba, ku lw’abenju yeebaziza nnyo bakojja be olw’okutabaganya Oluganda.

Owek. Kiyimba asinzidde wano  n’avvumirira eky’abantu naddala abasika abatemaatema mu bye basikidde ne babitunda okubimalawo naabasaba okukomya okweyagaliza n’okwagala  okufuna amangu .

Ono akubirizza abantu bulijjo bwe babaako bye bafunye naddala mu busika, babikulaakulanye ate n’emirembe egiddako gibiganyulwemu.

Omukolo guno gwatandise n’ekitambiro kya mmisa ekikulembeddwamu Msgr. Alipio Kyambadde era ono akubirizza bazukkulu banne okwongera okukolagana ng’enkuyege mu mirimu gye bakola, kibayambeko okwekulaakulanya n’okukuuma obumu.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist