
Bya Ssemakula John
Luwala – Kyaddondo
Kamalabyona Charles Peter Mayiga akubiriza bannabyabufuzi mu ggwanga okufaayo okulaba nga beemalira ku bintu ebiyamba abantu mu bitundu byebatwala okusinga okudda kwebyo ebibaggya ku mulamwa nga tebiyamba bebakulembera.
Bino Owek. Mayiga abyogeredde mu Ssaza Mawokota bwabadde atongoza sizoni eyokubiri eya Mmwanyi Terimba ku Lwokubiri.
Kamalabyonna e Mawokota atuuseyo ku ssaawa ssatu ez’okumakya era atandikidde mu Ggombolola ya Mutuba I Mpigi ku kyalo Konkoma gyasanze omulimi Pius Muganga ng’ ono alimira ku Yiika z’ettaka 10.
Ono akubirizza abavubuka okubeera abagumikiriza beeyambisa ettaka ettono lyebalina balime emmwanyi basobole okwekulaakulanya era beegobeko obwavu.
Bw’avudde eno Owek. Mayiga atuuseeko ku Kyalo Bwanya mu ggombolola ya Ssabawaali Mpigi okulambula omulimi w’e mmwannyi Stephen Ssemugera nga ono takoma kulima mmwannyi zokka wabula n’okulunda Nkoko ekintu ekimufudde eky’okulabirako eri abavubuka .
Oluvannyuma Kamalabyonna Mayiga oluvudde wano olwavudde eno agenze ku kyalo Busero nalambula ekyuma ekisunsula emmwanyi.

Mungeri yemu kamalabyona awuubyeko olubu lw’ekigere ku kyalo Kanyike Mawokota mu maka ga Dr Lawrence Mulindwa nga eno gyagabulidde abantu bakabaka ekyemisana.
Owomumbuga yeebaziza Dr. Lawrence Mulindwa olw’okuwangira enteekateeka z’Obwakabaka. Oluvanyuma Mukuumaddamula asisinkanye abantu bakabaka ababadde bamulindiridde ku kisaawe e Kamengo nayogerako gyebali
Bano abakubirizza naddala abali mukulima emmwaanyi okwewala okukozesa obubi ensimbi zebafuna mu Mmwanyi nga bazisaasaanyiza mu kunywa omwenge ekiyinza okubaviirako okufuna Mukenenya.
Asabye abantu bakabaka okusa gavumenti ku nninga ebakolere ku byetaago byabwe kubanga ebaggyamu ensimbi mpitirivu naddala ku mmwanyi zebalima.
Ye Minisita w’ebyobulimi n’obwegasi owek. Hajji Amisi Kakomo akubiriza Bannamawokota okulima emmwanyi ezo ekiri ku mutindo.
Omwami wa Beene amulamulirako essaza Mawokota, Kayima Sarah Nanono Kaweesi yeyanziza Ssaabasajja olw’obuvunaanyizibwa bweyamuwa era naawera okunnyikiza enteekateeka z’Obwakabaka okulaba nti abantu be bakulaakulana.
Banabyabufuzi e Mawokota nga bakulembeddwamu omubaka omukyala owa disitulikiti ye Mpigi Teddy Nambooze nabo batendereza Kamalabyona olwa kawefube wa Mmwanyi Terimba nebasuubiza okumuwagira.









