
Bya Ronald Mukasa
Mmengo – Kyaddondo
Katikkiro Charles Peter Mayiga akubiriza abafumbo bulijjo okusiga mu bufumbo bwabwe nga bawuliziganya saako nokuwang’ana ekitiibwa okusobola okubunyumirwa n’okubweyagaliramu.
Owek. Mayiga bino abyogeredde mu nsisinkano gy’abaddemu ne munnamawulire Matovu Michael Birimuye ne mukyala we Nabachwa Vivian Birimuye abaagatibwa mu Lutikko e Kitovu mu Buddu gyebuvuddeko.
Mukuumadda Mayiga agamba nti obufumbo ly’eggunjuliro erisookerwako eri omuntu yenna eranga buyamba okukkuza abaana abantu balamu, abakozi, abegendereza ate ng’abafaayo ku balala.
Abafumbo bano kamalabyonna abakubiriza okukuuma ekifaananyi ekirungi kubanga omwami Birimuye mukozi mu bwakabaka ate munna mawulire amanyiddwa abantu abangi ddala.
Owek. Mayiga abakuutide okubeera abakozi okusobola okubeera n’ensimbi ezibayamba okuddukanya amaka gaabwe, era nabakubiriza bulijjo okutemera ebizibu ebyenjawulo empenda basobole okuvvuunuka ebisoomoza mu maka.
Omwami Matovu Michael Birimuye yeebaziiza nnyo Kamalabyonna olw’okufisaawo akadde okubasisinkana, era neyeebaza buli yenna eyeetaba mu kuteekateeka omukolo gwabwe.
Birimuye asuubiza okusigala nga muwulize eri Nnamulondo ng’awereza Nnyinimu nokukuuma ekifaananyi ekituufu eky’Embuga.
Ensisinkano eno yetabiddwamu Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek Patrick Luwaga Mugumbule, Minisita wa Kabinenti nensonga za woofiisi ya katikkiro ow’ek Noah Kiyimba n’abantu abalala bangi.









