
Bya Ronald Mukasa
Bulange – Mmengo
Obwakabaka bwa buganda bwetondedde gavumenti y’eggwanga lye Namibia alw’abantu ab’emitima emibi eri obwakabaka abasalawo okusiwuuka empisa nebekolera obusolosola mu Ggwanga neku bitebe byabwe mu mawanga egenjawulo nga beekwese mu mbeera y’obulwadde bwa Beene eyali agenzeeyo okujjanjabwa.
Kamalabyona Charles Peter Mayiga bw’abadde ayogerako eri obuganda enkya yaleero mu Bulange Mengo ategeezeza nti abo bonna balabe ba Buganda abeetaaga okwasanguzibwa n’okusomesa essomo.
Mu kiwandiiko Kamalabyonna Mayiga kyasomye ateegezezza Obuganda nti Ssaabaasajja Kabaka yakomyewo mu nsi ye era asinzidde wano neyeetondera Gavumenti ya Namibia olwabantu abasiiwuuka empisa nebekalaakasiza ku bitebe bya Namibia mu mawanga agenjawulo nga beefudde ababanja Kabaka.
Kamalabyona azeemu okujukiza abanti ba Buganda nti ensonga z’obulamu bwa Kabaka zibeera zakyama nga bwezityo tezisobola kwasanguzibwa buli asanze.
Mukuumaddamula annyonnyodde nti okudda kwa Ssaabasajja Kabaka kubongedde amanyi era emirimu gigenda kwongera okutambula kuba Nnyinimu mwaali.
Ow’omumbuga agattako nti emirundi mingi azenga abuulira Obuganda ebifa ku bulamu bwa kabaka n’ekigenderwa ekyokumanyisa abaganda embeera Beene mwabadde era wano asabye Obuganda okutunuulira abantu ababadde boogera ebyaswakaba ku bulamu bwa Ssaabasajja n’erIiso ejjogi.
Ono agamba nti wadde Omutanda mw’ali alamula naye omukolo gw’okujjukira Amatikkira ga Beene ag’emyaka 31 nga alamula abantu be.

Ayanukudde n’ebibadde bibungesebwa ku mutimbagano nga Ssaabasajja Kabaka bweyavudde e Namibia ku buwaze olwa Visa ye okuggwako nakakasa nti kino si kituufu.
Kamalabyona akubiriza abantu b’omutanda okusigala nga bali bumu mu kiseera kino nga waliwo baagala okutaagulataagula obuganda.
Obwakabaka bwongedde okulabula Obuganda okwerinda abantu batyoboola Nnamulondo era busitukiremu okulwanirira n’okutaasa Ekitiibwa Ky’obwakabaka, .
Ono yeebazizza olulyo olulangira, abaweereza ba Nnyinimu, abasawo ba Beene bonna n’Obuganda bwonna olw’enkolagana ennungi ebbanga Kabaka lyamaze e Namibia.
Mu buufu obwo Kamalabyonna waasabidde abantu ba Buganda bulijjo okugoberera amawulire agava embuga, ewa katikkiro, Minisita wamawulire, oba omuntu Nnyinimu gwasiimye okuva mu lulyo olulangira.
Olukungaana luno lwetabiddwamu Ssaabawolereza w’Obwakabaka, Christopher Bwanika, Minisita w’ Amawulire Okukunga era omwogezi w’obwakabaka Ow’ek Israel kazibwe Kitooke, Minisita wa gavumenti ez’ebitundu okulambula kwa Kabaka nensonga za Buganda ebweru Owek. Joseph Kawuki, Minisita w’Ebyenjigiriza n’ Enkulaakulana y’Abantu, Owek. Cotilda Nakate Kikomeko ne Minisita Noah Kiyimba
Bino webijjidde nga Beene yakomyewo mu kiro ekikeesezza olwa leero nga Nnyinimu Ronald Muwenda Mutebi II yakomyewo ku butaka okuva mu Ggwanga lye Namibia gy’eyali yagenda okuwummulako n’okufuna obujjanjabi.









