• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Minisita Wamala asabye  Abakulu Ab’obusolya okunyweza Obukulembeze mu Bika

Gambuuze by Gambuuze
July 19, 2024
in Agafa e Mengo
0 0
0
Minisita Wamala asabye  Abakulu Ab’obusolya okunyweza Obukulembeze  mu Bika
0
SHARES
30
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Shafik  Miiro

Kyango – Mawokota

Minisita w’Obuwangwa n’Ennono, Oweek. Dr. Anthony azzeemu okulambula Obutaka era olwaleero abadde Kyango mu Mawokota ku butaka bw’Ekika kya Kayozi n’ekya Kasimba naasaba abakulu b’ebika mu Buganda okufaayo banyweze obukulembeze bw’ebika byabwe.

Owek. Wamala agamba singa bakola kino bajja kusobola okubikulaakulanya ku mitendera egy’enjawulo okuli Essiga, Omutuba, Ennyiriri okutuuka ku nju, okwanguya okulondoola abazukkulu bonna ab’Ekika n’okusobola okubateekerateekera obulungi.

Minisita Wamala akubirizza abakulembeze okuwandiisa bazukkulu baabwe, okuwandiisa olukiiko lw’Abayima b’Ekika, okulongoosa Obutaka n’okugunjawo enteekateeka ez’enkulaakulana mu Bika, omuli okuyambako abazukkulu mu kusoma, obweggasi, okulima ku mbuga z’Ebika n’okukuuma Ettaka ly’Embuga z’Ebika.

Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka  Nnamwama Augustine Kizito Mutumba agamba nti okulambula Obutaka kiyambye nnyo okumanya ebifa ku mbuga ez’enjawulo era basobodde okuzuula ebisoomooza eby’enjawulo mu Bika nga kumpi bifaanagana era kino kigenda kuyambako mu kubinogera eddagala.

Nnamwama Augustine Mutumba  era yeebaziza Ebika ebifubye ennyo okununula n’okukuuma Ettaka ly’Embuga z’Ebika, neebyo ebimaze okwewandiisa mu nteekateeka ya ‘Bika Trust’ era wano asabye ebitanaba kwewandiisa nabyo okukikola mu bwangu okusobola okunyweza obwannanyini bw’ebintu by’Ebika.

 Ono era yeebaziza nnyo abazukkulu abajjumbidde okuwagira enteekateeka z’Ebika byabwe n’asaba bonna balala okulabira ku bannaabwe beetabe mu mirimu gy’Ebika.

Omwami w’Essaza Mawokota Oweek. Sarah Nannono Kaweesi asiimye nnyo enteekateeka eno ey’okulambula Obutaka bw’Ebika gy’agambye nti egenda kuyamba nnyo mu kumanyisa n’okwagazisa abazukkulu Obutaka bwabwe, era yeebaziza Bajjajja abafuddeyo ennyo okutuuka ku Bazukkulu baabwe. Ayongeddeko nti singa buli muntu amanya ensibuko ye kijja kwongera okunyweza olugendo lw’okuzza Buganda ku ntikko.

Okulambula kuno kusookedde ku butaka bw’Ekika ky’Akasimba e Nvule Kyango ate oluvannyuma e Nsasa, Kyango era Abataka bombi Jjajja Kabazzi Ssempuuma David Martin Mitti owa Kasimba ne Jjajja Kafumu Kizito Batuuka owa Kayozi basiimye nnyo enteekateeka eno eyatandikibwawo Obwakabaka kubanga ejja kuyambira ddala okuwanyisiganya ebirowoozo ebigenda okuyamba okuzza amaanyi mu Bika.

Enteekateeka y’okulambula obutaka bw’Ebika eby’enjawulo ekyagenda mu maaso, era esuubirwa okukolebwa mu Bika byonna.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.