
Bya Ronald Mukasa
Bulange – Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda bwakutandika okusomesa abantu ab’enjawulo ku ngeri gyebasobola okukuumamu Obutonde bwensi kibuwonye okutaaguza n’okusanyizibwawo abantu abatamanyi mugaso gwabwo.
Ekyama kino kibikuddwa Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Hajji Twaha Kawaase Kigongo mu bimuli bya Bulange leero ku Lwokuna bw’abadde atongoza enteekateeka etegekeddwa Abataka Abakulu ab’Obusolya.
Owek. Kaawaase annyonnyodde obukulu bw’okukuuma Obutonde bw’ensi eri Ennono n’Obuwangwa bwa Buganda kuba ebintu nga Ebika n’Emiziro awamu n’emikolo egy’enjawulo byonna bitambulira kuno.
Owek Hajji Prof. Twaha Kaawaase Kigongo ategeezezza nti eggwanga lyolekedde akaseera akazibu nga akaliiwo mu kiseera kya COVID-19 singa tewabaawo kikolebwa ku kukuuma obutonde bw’ensi.
Owek Kaawaase agamba nti mu kiseera kino omuwendo gw’abantu gweyongedde saako n’obungi bw’emmotoka ezivaamu omukka ogwobulabe n’amakoleera era awadde amagezi abatandiisi b’amakoleero okwenyigira mu kusimba ebintu gisobole okutaasaako ku mbeera eno.
Ono sabye abantu mu Bugganda okwongera amanyi mu nteekateeka ey’okukuuma obutonde bw’ensi neyebaza Abataka olw’okuvaayo ne kaweefube ono.
Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka era Omutaka w’Ekika ky’Ekkobe Nnamwama Augustine Kizito Mutumba annyonnyodde nti Ebika bya Buganda bisibuka mu butonde bwansi nga bwekityo kigwaanye okubukuuma mu mbeera yonna.
Nnamwama Mutumba agasseeko nti omosomo guno gugendereddwamu okusomesa abaana ba Buganda omugaso gw’Obutonde eri Omuganda okuva edda n’okutuuka essaawa ya leero.
Ye minisita w’ Obuwangwa, Ennono n’Ebyobulambuzi, Owek Anthony Wamala ategeezeza nti wateekeddwa okubaawo okunnyikiza omugaso gw’okutaasa nokukuuma Obutonde bw’ensi nga buli sekinoomu asomesebwa akakwate wakati w’Ekika kye n’Obutonde.
Owek Wamala akoowodde bazukulu ba Buganda okugwayo beetabe mu musomo gw’omwaka guno basobole okunnyonnyoka Obuwangwa, Ennono wamu n’Obutonde.
Kinajjukirwa nti omusomo ogutongozeddwa gwakubeerawo 25 omwezi ogw’e 10 mu Lubiri e Mengo.
Omukolo guno gwetabiddwako baminisita ba Kabaka ab’enjawulo okubadde Minisita owa Gavumenti ez’ebitundu Owek Joseph Kawuki , Minisita w’Obutonde bwensi ne Bulungibwansi Owek Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo, Minisita w’Amawulire era Omwogezi w’Obwa Kabaka Owek Israel Kazibwe Kitooke, Minisita Cotilda Nakate Kikomeko n’abantu abalala.









