
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga simusanyufu ne bannamateeka abalya ku bantu ensimbi ate nebeekobaana nebebavunaana nebafutyanka emisango gyabwe nti kimenya amateeka agafuga bannamateeka.
Bino Kamalabyonna Mayiga abyogeredde ku mbuga enkulu e Bulange e Mmengo bw’abadde asisinkanye abayizi abasoma amateeka ku Kampala International University.
Owek. Mayiga agamba nti kino oluusi kimalamu abantu amanyi ababeera n’okusoomozebwa okwenjawulo nebamaliriza nga batwalidde amateeka mungalo basobole okufuna obwenkanya.
Kamalabyona abalabudde ku ky’okwagala obugagga obw’amangu nti kyabulabe era kimazeewo abavubuka bangi.
Owomumbuga mungeri abasabye okwewala okugoberera firimu z’abazungu ezikwata ku mateeka naddala ezo ezibeera ku mutimbagano nti nnyingi tezijaawo bwerufu bw’amateeka.
Owek. Mayiga agamba nti okusoma n’okukola amateeka kyetaaga obugumiikiriza, obwesimbu, n’obwerufu, era n’okumanya obulungi abantu be bakolera kibayambeko naddala okufuna obujulizi bwe beetaga okuggusa emirimu gye bakola.

Ye Ssaabawolereza w’Obwakabaka, Owek. Christopher Bwanika ategeezezza nti Obwakabaka bwetegefu nga buyita mu woofiisi ye okulambika omuntu yenna eyeetaaga okuyambibwa mu by’amateeka.
Akuliddemu abayizi bano era munnakibiina ki Nkobazambogo, Omumbejja Christine Ndagire ategeezezza nti ekibaleese kwekufuna okulambikibwa okuva eri Kamalabyona ku ngeri ey’okunyikizaamu amateeka okwewala okumenya amateeka.
Bano era baguze Satifikeeti okuwagira emirimu gya Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka.









