Bya Francis Ndugwa
Kyambogo – Kyaddondo
Obwakabaka bwa Buganda nga buli wamu ne Ssettendekero wa Kyambogo butandise ku nteekateeka z’okuzzaawo omuti gw’ebyafaayo Ssekabaka Muteesa 1 gweyatuula wansi wagwo nga naawandikira Nnaabakyala wa Bungereza ebbaluwa naayita abazungu okubangula abantu be.
Abakulu ku njuyi zombi basisinkanye ku Mmande e Kyambogo okutema empenda ku ngeri gyebasobola okuzzaawo omuti guno era nebalonda Prof. Maria Gorretti Nassali yalondeddwa okukulira akakiiko akagenda okulabirira eddimu lino.
Ono agenda kumyukibwa Omulangira Luutu Ssuuna ate Hajati shifah Namubiru naalondebwa okubeera omuwandiisi w’akakiiko kano.
Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire Prof. Nassali agambye nti balina enteekateeka y’okuggyawo ebimu ku bitundu by’omuti enduli basobole okugitereka.
Prof. Nassali agasseeko nti bakukwatagana ne bannabyafaayo basobole okuzuulirira ddala emyaka emituufu omuti guno gyegumaze.
Ono annyonnyodde nti mu nteekateeka eno bakwetaaga ensimbi n’obukugu obw’enjawulo okulaba nti ebyafaayo bikuumibwa ate n’omuti guno guddawo.
Ye Omulangira Luutu Ssuuna annyonnyodde nti ekifo kifo kigenda kufuulibwa eky’obulambuzi kuba y’ensibuko y’ebyenjigiriza n’eddiini mu Buganda ne Uganda.
Kinajjukirwa nti omuti guno gwagwa mu mwezi ogw’okusatu omwaka guno oluvannyuma lwa nnamutikwa w’enkuba eyali afudembye.