
Bya Ronald Mukasa
Lubaga – Kyaddondo
Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde abadde omuweereza mukitongole kya Tekinologiya mu Gavumenti ya Beene eyavudde mu bulamu bw’ensi ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde.
Omugenzi Nakku yafiiridede mu ddwaliro e Nakasero gyabadde nga afuna obujjanjabi era obubaka bwa Gavumenti ya Beene bwatuusiddwa Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Owek. Prof. Twaha Kigongo Kaawaase mukusabira omwoyo gw’omugenzi mu Lutikko e Lubaga.
Owek. Kaawaase ayogedde ku mugenzi ng’abadde ayagala ennyo Obwakabaka okuviira ddala mu ssomero mu kibiina ki Nkobazambogo ng’ono gyeyatandikira okuweereza Nnyinimu.
“Okufa kwa Lydia kulese eddibu ddene mu kitongole Kya Tekinologiya mu Bwakabaka, tubadde twakamala okubaga ekiwandiiko ekigenda okuyambako okulung’amya enkozesa y’omutimbagano munaffe ono mukama wamuyitidde,” Prof. Kaawaase bw’ategeezezza.

Ono asabye ab’oluganda lw’omugenzi, abasibiridde ekyawandikibwa okuva mu Yisaaya 41:10 nabasabira mukama okubayisa mu kiseera kino eky’okunyigirizibwa.
Bwanamukulu wa Lutikko y’e Lubaga Fr. Achilles Mayanja agumiza ab’oluganda lw’omugenzi n’abaana nabakwasa mukama okubanyiga ebiwundu kyokka nakubiriza abakungubazi bonna bulijjo okwefumitiriza ku bulamu bwabwe nga bakyali balamu okulaba engeri gye bagasizamu omutonzi waabwe saako nokunweza empissa eyokusabira abaffu.
Fr. Mayanja era ajjukiza abakungubazi nti ku nsi fenna tuli bayise era neyeebaza Bba w’omugenzi olw’okukkiriza mukyala we okuwereza Eklezia ng’akyali mulamu.
ku lwa baana Alfred Bakyusa Kakooza yeebazizza nyaabwe olw’omukwano nokufaayo kwabalaze nga akyali mulamu nategeeza nti yadde nyabwe agenze, basigaza ebijjukizo bingi mu bulamu bwabwe.
Bba w’omugenzi Alfred Bakyusa yeebazizza abantu bonna abetabye mukusabira omugenzi n’abamuyambyeko nga afuna obujjanjabi kyokka nabasaba okumusabira n’abaana basobole okuyita mukusomoozebwa kuno.









