
Bya Francis Ndugwa ne Ronald Mukasa
Bulange – Mmengo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga alabudde abaganda ku bantu abeesomye okutematema mu bantu ba Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka n’ekigendererwa ky’okubatematemamu era babakyayise Obwakabaka.
Okulabula kuno Kamalabyonna Mayiga akukoledde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri bw’abadde atikkula eggombolola ezivudde e Kyaddondo, Buddu ne Bulemeezi oluwalo lwa bukadde obusobye mu 35.
“Tulina abantu ennaku zino abaagala okututematemamu olw’ebigendererwa byabwe ku bwabwe. Kale waliwo abatayagala Bwakabaka tugambe ng’abo ababuggyawo n’abawagizi babwe.
Naye ate tulina abatabwagala naye nga beefuula ababwagala, buli lukedde wabaawo kyeboogera ku Bwakabaka nga baluubirira okumalamu abaganda amaanyi balekere awo okuyaayaanira Nnamulondo,” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza.

Owek. Mayiga agamba abantu bano beefula abalumwa Buganda naye nga ebigendererwa n’ebikolwa byabwe byakubusanyaawo era ne Nnyinimu bano yabalaba dda naalabula abantu be.
Abasabye okwegendereza abo abeefuula okumanya ebikwata ku Ssaabasajja Kabaka okusinga abaana be, Katikkiro ne Baminisita Kabaka beyeelondera .
Owek. Mayiga Abaami abasabye okumanya ebituufu era babibuulire abantu babitegeere era bakuume obumu olwo basobole okumalako ebibasomooza.
Kulwa Minisita owa Gavumenti ez’Ebitundu Owek. Joseph Kawuki, Owek Israel Kazibwe Kitooke era Minisita w’Amawulire n’Okukunga asabye abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo okuwa ekitiibwa obuvunaanyizibwa obw’enjawulo bwebalina.
Owek. Kazibwe bano abannyonnyodde nti wadde obukulembeze bubeera n’ebisomoozebwa naye bafube bulijjo okubeera eky’okulabirako kibayambe okukola obukulembeze obulungi era obulung’amu.

Abazadde abakubirizza okukomya okutiitiibya abaana nga babawa ebintu eby’ebbeeyi byebatasobola baleme okubaggya ku mulamwa n’okugwa ku mabanja.
Bbo Abaami abakiise embuga beeyamye okukola buli kisoboka okukuuma abantu babwe nga bali bumu kiyambe okunyweza Nnamulondo ne Buganda okudda ku ntikko.









