Bya Ronald Mukasa
Bulange – Mengo
Nnaabagereka Sylvia Nagginda nga ayita mu kitongole kye ki Naabagereka Development Foundation ayanjudde enteekateeka y’okusaasaanya obubaka obukwata ku ndwadde z’omutwe n’okuzirwanyisa. Enteekateeka eno egenda kutambulira wansi w’omulamwa ogugamba nti “Shine a light, illuminating mental health.” ng’eruubirira okulaba nga abantu abatawanyizibwa endwadde z’emitwe tebasosolwa mu bitundu gyebawangaalira nabo basobole okweyagalira mu bulamu.
Bwabadde atongoza enteekateeka eno wali ku Mbuga y’Obwakabaka enkulu e Bulange – Mengo, Nnaabagereka ategeezezza nti embeera nnyingi eziviirako abantu okutataaganyizibwa mu bwongo nga kale betaaga okubeerwa n’okubudaabudibwa wamu n’okukubiriza abantu obutababoola.
Mu kaweefube w’okutuukiriza enteekateeka eno, ebitongole eby’enjawulo ebyesowoddeyo okukwatizaako Nnaabagereka era bino bisse omukago okunyweza enkolagana nga mu bino mulimu, kitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna ki World Health Organization, ekakiiko akalondoola eby’empuliziganya mu ggwanga ka Uganda Communications Commision, kampuni y’ebyempuliziganya eya Airtel ne bbanka ya I&M
Okusinziira ku kunoonyereza okwakolebwa minisitule y’ebyobulamu mu mwaka gwa 2023, ku buli bannayuganda basatu, omu atawaanyizibwa endwadde y’omutwe mu ngeri emu oba endala. Wabula okunoonyerea kuno kulaga nti ezimu ku ndwadde zino tezirabika kyokka nga abalina ezirabika baboolebwa mu bitundu gyebawangaalira era kino kyekyawaliriza Nnaabagereka okutandika olubimbi lw’okunogera ekizibu kino eddagala.
Minisita w’ebyenjigiriza mu Bwakabaka bwa Buganda era nga y’avunaanyizibwa ku woofiisi ya Naabagereka, Owek. Cotilda Nakate Kikomeko ategeezezza nti enteekateeka ya Nnaabagereka bagirinamu essuubi ddene era alayidde okuggyayo n’agomubuto okulaba nti enteekateeka eno evaamu ebibala