
Bya Ronald Mukasa
Bulange – Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda bulangiridde nga bwebuzizzaawo omuzannyo gw’eggaali z’empaka mubutongole, ng’ezomwaka guno zakutandiikira mu Ssaza ly’ebulemeezi mu Luweero eranga zino zakubeera mu mitendera 4.
Ekirangiriro kino kikoleddwa Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone, Owek. Robert Sserwanga mu lukung’aana lwa bannamawulire olutudde e Bulange Mmengo ku Lwokubiri.
Minisita Sserwanga agamba nti omutendera ogusooka gwa ggaali eza ggiya nga muno abasajja bakuvuga kilomita 90 emirundi 3 so nga abakyala bakuvuga kilomita 60 emirundi 2.
Owek. Sserwanga agasseeko nti omutendera omulala gwa ggaali zi maanyi ga kifuba nga muno abasajja bakuvuga kilomita 60 emirundi 2 ate abakyala bavuge kilomita 30 omulundi gumu.
Ono era ategeezeza ng’ omuzannyo guno bwegubadde gwasulwa wabula ng’Obwakabaka busazeewo okuguzzaawo okusobola okuwa omukisa abagwagala nabasobola okugwetabamu omukisa.

Owek. Sserwanga agamba nti buli ssaza lisuubirwa okuweereza abavuzi wakati wa 3-6 ku buli mitendera era ng’empaka zino zakuberamu enkontana za mirundi ettaano mu mwaka wabula nga buli mulundi gutegekebwa olunaku lumu era nga zitandika ku ssaawa 3 ez’okumakya okutuuka ku 6 ez’omutuntu.
Essaza okuwangula liteekeddwa okwetaba mu nkontana okuli; olwa Ssande nga 14/04/2024 Luweero -Bulemeezi, Ssande nga 07/07/2024 Mityana -Singo, Ssande nga 08/09/2024 Ssese-Ssese, Ssande nga 06/10/2024 Masaka-Buddu, ne Ssande nga 16/11/2024 okwetoloola Lubiri Ring Road era zino ze zakamalirizo.
Okusinziira ku bategesi, Amasaza gonna amatongole agali wabweru wa Buganda, gakkirizibwa okwetaba mu mpaka zino wabula nga gawakanira ekikopo kya “Diaspora” so nga ate aga Buganda nago gaakuvuganya gokka.
Wano webasabidde ttiimu ez’enjawulo ezigenda okuvuganya okwewandiisa ne Minisitule y’ Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone obutasukka 12 Kafumulampawu 2024.
Walondeddwawo olukiiko o oluteesiteesi olw’empaka zino nga lukulemberwa; Ssentebe Lukwago Mathias, Omuwandiisi Sserwanga Ahmed Kabogozza ne Issa kimbugwe ng’ono yewa mawulire.









