• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Katikkiro Mayiga aguddewo Olusirika lw’Abakulembeze mu Buganda 2024, abasabye okwewa Federo y’ebikolwa nga bwebalinda ey’ amateeka

Gambuuze by Gambuuze
March 25, 2024
in Agafa e Mengo, Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga aguddewo Olusirika lw’Abakulembeze mu Buganda 2024, abasabye okwewa Federo y’ebikolwa nga bwebalinda ey’ amateeka
0
SHARES
69
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Kakeeka – Mmengo

Katikkiro  wa Buganda  Charles Peter Mayiga agguddewo olusirika lw’abakulembeze mu Bwakabaka, okukuba tooci mu byebalina, okukola okwongera okutumbula obuweereza mu ngeri y’okwewa Federo ey’ebikolwa olwo ey’amateeka wenaabasangira.

Olusirika luno  Kamalabyonna aluguliddewo ku Ssettendekero wa Muteesa 1 Royal University e Mmengo ku Mmande nga lugenda kumala ennaku bbiri nnamba nga lukubirizibwa Sipiika Patrick Luwaga Mugumbule .

“Byetukyalina okukola byebisinga obungi awo nno ffenna tunywere tutuukirize obuvunaanyizibwa obwatukwasibwa. Omulamwa gw’olusirika luno mugulabye, ‘Tuseeseetuke tuve ku nteekateeka ez’omungumba tugende mu nteekateeka ez’omuggundu nga tunnyikiza Federo ey’ebikolwa,” Owek. Mayiga bw’annyonnyodde.

Bano abasabye okutwala eky’okulabirako kya James Mulwana eyagatta omutindo ku mata geyali afuna mu nte zaalunda nazikolamu ekkolero ly’amata nga asukka ku Pulogulaamu y’obusa, amata awamu n’okulima omuddo ogulimu ekiriisa natuuka okukola ebintu nga Yoghurt, Ice cream n’amasanyalaze okuva mu busa.

Owek. Mayiga agamba nti abakulembeze tebalina kukola bukozi mu ngeri y’okutuusa oluwalo naye bagikole mu nteekateeka ey’omuggundu gisobole okuvaamu ebibala ebinazza Buganda ku ntikko.

 Ono era abakuutidde okubeera ekyokulabirako eri abantu babakulembera, nÓkwettanira enkola zonna eziyamba mu kuggya abantu ba Kabaka mu bwavu, nga bayita mu buyiiya  n’obuteenyoomera mu buweereza bwa Beene.

Katikkiro asabye abakulembeze obutawaliira na bintu binene, wabula batandike nébitonotono ebiriwo, oluvannyuma bigeggye.

Agasseeko okubasaba okubeera mu bantu , okulondoola emirimu gyábantu ba Kabaka n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe mu yafeesi, ate n’okuzikuuma nga zinyirira era nga ziweesa Obwakabaka ekitiibwa.

Ye Omumyuka Asooka owa Katikkiro era Omuwanika,  Owek Robert Wagwa Nsibirwa asabye abakulembeze okunnyonnyola abantu enteekateeka za Ssaabasajja ezenjawulo, okubawa ku magezi ku ngeri z’okulwanyisa Obwavu n’enteekateeka endala.

Omuwanika Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, agambye nti emyaka 10 emabega emirimu bagyesigamya ku pulojekiti kubanga ebintu byali tebinannyikira, enteekateeka mu byensimbi yali nzibu nnyo nga kizibu okukola enteekateeka ez’omugundu.

Olusirika luno lwetabiddwamu abakulembeze ab’enjawulo omuli Baminisita, bammemba b’Olukiiko, Abataka ab’Obusolya, Abakulira ebitongole n’Abaweereza ku mitendera emirala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.