Bya Ronald Mukasa
Namirembe – Kyaddondo

Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule akuutidde abazadde naddala abakyala okufaayo ku nkuza y’abaana.
Sipiika Mugumbule okwogera bino abadde akiikiridde Kamalabyonna Charles Peter Mayiga ku mukolo gw’ Abakyala abafumbo mu kkanisa ya Uganda abeegattira mu kibiina ki Mothers’ Union bwebabadde bajaguza olunaku lwa maama Maria mu maka ga Ssaabalabirizi Dr. Samuel Stephen Kazimba Mugalu ku Lwokusatu.
Owek. Mugumbule agamba nti abakyala bebasinga okuwangaala n’abaana nga bwekityo bavunaanyizibwa ku mpisa zabwe bwatyo naasaba wabeewo okuwuliziganya ku njuyi z’abazadde n’abaana.
Mugumbule annyonnyodde ng’ekibiina kino bwekiri eky’enkizo ennyo okwawukanako nebirala kubanga bano balina omwaganya okukula mu mwoyo ne mumbeera zaabwe ez’obulamu naabozaayoza okutuuka ku lunaku luno.
Ye Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda, Dr. Samuel Stephen Kazimba Mugalu, akunze abakyala bano okwekumira mu kusaba n’okwesiga katonda kubasobozesse okuvunuka ebibasomooza mu maka n’ eggwanga lyonna.
Dr. Kazimba era asabidde abakyala n’abaana munsi yonna abayita mukusomoozebwa okwenjawulo okuvunuka ebibasomooza era nasaba buli muntu okuvunyizibwa mukukomya obutabanguko mu maka.

Ono era asinzidde ku mukolo guno natongoza akatabo aka Family Prayer Guide akawomeddwamu omutwe obukulembeza bwe kibiina kino.
Ku mukolo guno era basonze ssente ezigenda okuzimba ekizimbe ky’ekibiina ky’abakyala kino nga awaddeyo obukadde bw’ensimbi bubiri, ng’ensimbi ezisoba mu bukadde 12 zeezeyamiddwa.
Omukolo guno gwetabiddwqako abakyala okuva mu bulabirizi obwenjawulo okwetoloola eggwanga lyonna beetabye ku mukolo guno nga bambadde bussuti enjeru nebitambala ebya bululu ng’enkola yabwe bweri.









