
Bya Ronald Mukasa
Kampala
Akakiiko ak’okuntikko mu kkanisa ya Uganda, kalonze era nekalangirira Rev Venerable Canon Wilson Kisekka wa Luweero omuggya.
Rev Venerable Canon kati yafuuse omulabirizi ow’okuna era ng’ono wakutuuzibwa omwezi guno nga 26, 2024 ku lutikko ya St Mark esangibwa mu ttawuni kkanso ya Luweero.
Akakiiko Kano akamaze ennaku biri nambirira mu Lweza Training and conference center era kalonze Rev Can Alfred Muhoozi okudda mu bigere by’omulabirizi Namanya Steven mu bulabirizi bwa Ankole ng’ono wakuwummula emirimu gy’obusumba mu Muzigo (May) nga 26, 2024.
Ebikwata ku Rev Venerable Canon
Omulabirizi Kisekka aweza egy’obukulu 53, musajja mufumbo n’omukyala Rachael Kisekka, nga balina abaana bana.
Okutuuka okulondebwa abadde Ssaabadinkoni wa Ndeeba mu disitulikiti y’e kayunga mu busumba bw’e Mukono.
Ono alina Dipulooma mu ssomo ly’ebibira okuva e Makerere, ddiguli mu masomo g’eddiini kiyite (Theology) okuva ku Uganda Christian University, ne Master’s Degree mu masomo g’eddiini okuva mu Kwazulu University mu ggwanga lya South Africa.
Ono aweerezaako mu bifo ebyenjawulo mu kkanisa ya Uganda okuli obubuulizi ku kkanisa ya St Peters Lugazi n’e Misindye ssaako ne mu budinkoni bwe Nakanyonyi gyeyaweereza nga Ssaabadinkoni ngatanagenda mu budinkoni bwe Ndeeba.
Omulabirizi Kisekka agenda kukwasibwa woofiisi okuva ew’omulabirizi we Mukono eyawummula James William Ssebaggala, akuumye entebe eno ng’omulabirizi ow’ekiseera okuva mu July w’omwaka oguwedde 2023.
Venerable Canon Wilson Kisekka azze mu bigere bya Bishop Eridard Nsubuga eyawummula oluvannyuma lw’emyaka egyessalira okuggwako.









