• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Kamalabyonna Mayiga atongozza empaka z’Amaato eza Buganda Royal Regatta ez’omwaka 2024

Gambuuze by Gambuuze
February 24, 2024
in Amawulire, Ebyemizzanyo
0 0
0
Kamalabyonna Mayiga atongozza empaka z’Amaato eza Buganda Royal Regatta ez’omwaka 2024
0
SHARES
44
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Ndeeba – Kampala

Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza  empaka z’Amaato eza ‘Buganda Royal Regatta’ ez’omwaka 2024  wamu n’amateeka agagenda okutambulirako omuzannyo guno.

Omukolo Kamalabyonna Mayiga agukoledde ku Nnyanja ya Kabaka mu Ndeeba ku Lwomukaaga neyeebaza Olukiiko olukulembera omuzannyo guno olw’enteekateeka eno.

Owek. Mayiga ategeezezza nti omuzannyo gw’ Amaato mukadde nnyo mu Buganda nga gusoba mu myaka 200 era gweyolekera nnyo mu bukulembeze bwa Ssekabaka Muteesa I ne  Mwanga II abanyumirwanga nga ennyo omuzannyo guno kuba ekitundu ekinene eky’ennyanja Nalubaale kyali mu mikono gya Kabaka wa Buganda.

Kamalabyonna Mayiga agamba nti Ebika bingi mu Buganda ebitambulira ku nnono z’ennyanja n’amazzi ng’omutima, emmamba, envubu n’ebirala so nga  Amaato gaali nsonga nkulu nnyo okunyweza eby’okwerinda bya Buganda era ebyafaayo bingi ebikwata ku Mpingu kuba eya Ssekabaka Muteesa I yaliko Amaato agasoba mu mutwalo omulamba

Minisita avunaanyizibwa w’Ebyemizannyo, Abavubuka n’Ebitone, Owek. Robert Sserwanga asinzidde ku mukolo guno annyonnyodde nti ku luno baluubidde Amaato gano bagateeke ku mutendera gw’ensi yonna wadde maganda.

Owek. Sserwanga agasseeko nti Amaato gano galiko obulombolombo n’ennono ezigatambulirako era bakukola nnyo okukuuma ennono n’okugutwala mu maaso nga baaniriza abantu okuva mu nsi yonna okusobola okugeetabamu.

Ssentebe w’Olukiiko olukulembera omuzannyo guno, Eng. Emmanuel Ben Misagga ategeezezza nti eryato eritongozeddwa lyelisoose mu Buganda ne Uganda kuba wadde Amaato gabaddewo naye buli omu abadde afuna lirye nalireeta naye kati bonna abokwetaba mu mpaka zino balina kukozesa lino.

Okusinziira ku Eng. Misagga mu mpaka zino abavuzi bagenda kubeera bataano nga kuliko omukyala awamu naakuba eng’oma era nga lirina okukolebwa mu muti Omukebu okusobola okukuuma obuzito nga bwebumu era bino byonna bikoleddwa okuteekawo obwenkanya mu muzannyo guno.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist