Bya Francis Ndugwa
Makerere – Kyaddondo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asabye abantu okwenyumiriza mu nnimi zabwe ennansi basobole okuzikuza era zitegeerwe abantu abalala.
Okwogera bino Katikkiro Mayiga abadde ku Ssettendekero wa Makerere bw’abadde yeetabye ku mukolo gw’okukuza ennimi ennansi mu nsi yonna ku Lwokusatu.
Owek. Mayiga agamba nti okuggyayo obukulu bw’ennimi ennansi osobola okujuliza ebigambo bya Nelson Mandera eyategeeza nti omuntu bw’oyogera naye ku lulimi lwe by’omugamba bigenda butereevu ku mutima.
Okukkaatiriza ensonga eno, Katikkiro Mayiga anokoddeyo ebigambo by’omugenzi Livingstone Walusimbi bwe yagamba nti eggwanga eritalina lulimi libeera ffu.
Owek. Mayiga akakasa nti tosobola kubeera Munyankole oba Omulugwala omujjuvu nga tomanyi lulimi lwo wadde era waliwo obwetaavu okuyiga ennimi endala.
Ono asinzidde ku kunoonyereza okwakolebwa aba UNESCO nagattako nti okukozesa ennimi enzaaliranwa mu byenjigiriza kisobola okukendeeza ku muwendo gw’abatamanyi kuwandiika nakusoma wamu n’okukuumira abaana mu masomero.
Katikkiro Mayiga agamba nti ensonga y’okusomesa ennimi ennansi tesobola kwewalwa wabula okuteekawo enteekateeka esobola okuyamba okugitumbula mu bwenkanya.
Owek. Mayiga asinzidde wano nayozaayoza ekibiina ky’ebyennimi ku Ssettendekero ono nga kino kikulirwa Dr. Gilbert Gumushabu wamu n’ettendekero ly’ ebyennimi, Makerere University olw’okutumbula ennimi ennansi nga bazisomesa abaana nakakasa nti kino bwekigenda mu maaso zijja kutuuka ku mutindo gw’ennimi z’ensi eziri Uganda mu maaso mu byenkulaakulana.
Kinajjukirwa nti okujaguza olunaku lw’ennimi ennansi mu nsi yonna kwatandikira mu ggwanga lya Bangladesh naye oluvannyuma aba UNESCO enteekateeka eno nebagitwala mu maaso.