
Bya Francis Ndugwa ne Ronald Mukasa
Kyetume – Buweekula
Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye amaanyi abantu be gebataddemu okulima emmwanyi okulaba nga bagoba obwavu.
Omutanda obubaka buno yabutisse Kamalabyonna Charles Peter Mayiga naamulagira abuwe Bannabuweekula ng’abalambula n’okunyikiza enteekateeka y’Emmwanyi Terimba ew’omulimi Kayengere John ku kyalo Kyetume mu Buweekula.
Katikkiro Mayiga agamba nti Nnyinimu yamulagidde ategeeze Bannabuweekula nti, “Ttegeeza abe Buweekula nti amaanyi gaffe gali mukwerwanako era baneebalize abo abajjumbidde okulima emmwaanyi.”
Wano Kamalabyonna asabye abantu okulabira ku Kansala Kayengere kuba kyakulabirako kirungi eri abantu batwala era naasaba abakulembeze abalala okumulabirako.
Owek. Mayiga agamba nti wadde Buganda eyagala Federo naye kibeera kiswaza abantu baayo okubeera abaavu ng’abantu abamu balowooza nti walibaawo omuntu alijja naabawonya obwavu.

Bano Katikkiro Mayiga abasabye buli omu okukola era beenyigire mu kulima, okulunda oba okusuubula nga basinziira ku busobozi bwabwe.
Minisita w’Amawulire Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek Israel Kazibwe Kitooke, yeebazizza Kayengere olw’okuyigiriza n’okwagazisa omukyala n’abaana okulima ekirime kino.
Ye Omulimi Kayengere John yeebazizza Katikkiro Mayiga olw’enteekateeka y’Emmwanyi Terimba eyabazibula amaaso awamu naba BUCADEF olw’okubakwatirako ekibayambye okulaakulana.
Katikkiro Mayiga awerekeddwako Minisita w’Obulimi, obutale n’obweggasi Oweek Hajji Amisi Kakomo, Minisita w’Amawulire Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, Oweek Israel Kazibwe Kitooke, Minisita wa Kabineeti Olukiiko n’ensonga za Woofiisi ya Katikkiro, Oweek Noah Kiyimba, ne Ssentebe wa Bboodi wa BUCADEF Dr. Benon Muyinza Ssekamatte.
Kinajjukirwa nti Kamalabyonna wa kulambula abalimi mu Ggombolola Ssaabagabo Kasambya, Mutuba I Kitenga, ne Kasaana.









