
Bya Ronald Mukasa
Kalangala – Ssese
Abatwala eby’obulamu mu disitulikiti ye Kalangala bali mu kattu olw’ebbula ly’eddagala eriweweeza ku Mukenenya nga kino kireseewo okutya mu bantu abawangaala nakawuka kano.
Abakulu bagamba nti kati eddagala lino balyewola mu ddwaliro ekkulu e Masaka, ng’ekizibu kino kisinze kukosa eddwaliro elya Mugoye Health Center III ne Kasekuro Health Center III agasangibwa mu gombolola ye Mugoye.
Omusawo Nakajugo Josephine owa Mugoye Health Center III agamba ekizibu ky’ebbula ly’eddagala lino kyatandika mu mwezi gwa January w’omwaka guno nga neririwo kati ttono nnyo bw’ogerageranya n’omuwendo gw’abalwadde abalyetaaga.
Nakajugo agattako nti abalwadde babadde baweebwa eddagala erisobola okubatwala okamala emyezi essatu (3) n’omwenda(9) naye kati tekikyasoboka wadde ng’abalwadde beetaaga okumira empeke zino buli lunaku okusobola okuweweerako.
Akulira ebyobulamu e Kalangala, Teddy Namuli akkiriza nti ekizibu kino weekiri naye basuubira okufuna eddagala lino okuva mu kitongole ekibunyisa eddagala wano muggwanga ki National Medical stores ku nkomerero y’omwezi guno.
ono oyongeddeko nti enkolagana y’amalwaliro gano n’eddwaliro ekkulu e Masaka eyambyeko okunogera ekizibu kino eddagala.
Ye ssentebe w’eggombolola ye Mugoye John Kayima Muzeeyi, asabye gavumenti okuteeka essira ku kulwanyisa akawuka kano e Kalangala bweba yakutuuka ku kiruubirirwa kyaayo eky’okumalawo Sirimu mu 2030.
Kinajjukirwa nti okusaasaana kw’akawuka kano e Kalangala kwakendeera okuva ku bitundu 16 ku buli 100 nekudda ku bitundu 12.8 ku buli Kikumi ekyaali kireseewo essuubi mu lutalo lw’okumalawo ekirwadde kino.








