• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Minisita Kazibwe azzeemu okulabula abawalampa Nnamulondo, agamba abalala baakulabira ku Musana

Gambuuze by Gambuuze
February 19, 2024
in Amawulire
0 0
0
Minisita Kazibwe azzeemu okulabula abawalampa Nnamulondo, agamba abalala baakulabira ku Musana
0
SHARES
47
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Bulange – Mmengo

 Obwakabaka bwa Buganda nga buyita mu Minisita w’Amawulire Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek. Israel Kazibwe Kitooke buzzeemu okulabula abantu abawalampa Nnamulondo nebavvoola Kabaka wamu ne baminisita be nti bakusimbibwa mu mbuga babitebye.

Okulabula kuno Owek. Kazibwe akukoze ku Mmande bw’abadde ayogerako ne bannamawulire ku kukwatibwa kw’Omubuvuka  Musana Ibrahim eyeeyita Pressure Pressure abadde avvoola Nnyinimu  n’abakulembeze abalala.

“Tutwala omukisa guno okutegeeza abantu ba Ssaabasajja Kabaka mwenna nti okukwatibwa kwa  Musana Ibrahim gaali maanyi ga Bwakabaka n’okufaayo kwa b’ebyokwerinda. Omuntu anaddamu okwepampalika ku Nnamulondo ajja kukolebwako mu Mbuga z’amateeka,” Owek. Kazibwe bw’agasseeko.

Minisita Kitooke annyonnyodde nti omukono gw’amateeka tegugenda kukoma ku bavvoola Nnamulondo bokka naye naabo abawaaba emisango egitalimu nsa basobole okuliyirira Obwakabaka.

Ono era agumizza abantu  ba Buganda okusigala nga bali bumu mu kaseera kano akalimu okuluma obujiji kubanga obumu gemaanyi kubanga abamu ku bavubuka abali emabega w’ebikolwa bino bavugirirwa abalabe ba Buganda.

Owek. Kazibwe era yennyamidde olw’empisa eziserebye ennyo mu maka nga kino kivuddemu okufuna abavubuka abakuziddwa obubi nebatuuka n’okuwalampa Obwakabaka naasaba abazadde okufaayo ku nkuza y’abaana babwe.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist