
Bya Ssemakula John
Mayirikiti – Buikwe
Omutaka w’Ekika ky’Ennyonyi Ennyange, Mbaziira Kakooto Frank Kisaala akalaatidde Bazzukulu be okukulaakulanya ekika kyabwe era bennyigira mu nteekateeka z’Ekika.
Bino abyogeredde mu kulambula ab’Abakulu b’Amasiga g’Ekika kino n’okulondoola emirimu gy’Ekika ku mukolo ogubadde e Mayirikiti mu disitulikiti y’e Buikwe.
Omutaka Kisaala era abasabye okukola ennyo okuweereza ekika n’Obwakabaka okusobola okuzza Buganda ku ntikko n’okulaakulanya Uganda.
Ono era ategeezezza nti mu masiga 35 gebalina esiiga lya Lugonja likoze bulungi kuba lituuza enkiiko nokuwa alipoota nasaba bazzukulu be obutekutulamu.
Ye Omukulu w’Essiga lya Lugonja Kakumirizi asinzidde wano naakubiriza abazzukulu bajumbire enteekateka z’Ekika zonna kubanga zibayamba okumanyaganya n’okukuuma ettaka ly’ekika awatali kubongoota.
Ssaabalangira Namunji e Kibettu Sulaiman Kyambadde mukwogera kwe eri abazzukulu abasabye okubeera obumu okusobola okugenda mu maaso.
Katikiro w’Ekika ategeezezza nti omutaka Mbaziira atongoza olunyiriri lwa Nnyonyi ntono
Ku mukolo guno munna CBS Powesa Kasolo Fred asomesezza abazzukulu bano ku nkola y’okutereka n’okwewola nti lwebajja okulaakulana n’okutambuza emirimu gy’Ekika.









