
Bya Francis Ndugwa
Kitagobwa – Kyaddondo
Katikkiro Charles Peter Mayiga akubiriza abantu ba Buganda okwettanira okwekebezza endwadde buli kiseera naddala ezo ezitasiigibwa okusobole okwezetangira nga bukyali.
Bino abyogeredde Kitagobwa Kiteezi mu Ggombolola ye Kawempe bw’abadde yeetabye mu kitambiro kya Mmisa y’okusabira Emmanuel Kabonge Kandula eyavudde mu bulamu bwensi.
Kamalabyonna Mayiga, asabye abantu nga batandika omwaka guno omupya basse eby’obulamu ku mwanjo babiteeke mwebyo byebategese okukola mu 2024 nga bwebatera okulowooza ku kuzimba, okuwasa, oba okugula ekintu ekirungi.
Mu byanokoddeyo abantu okukola mulimu; okwemanyiiza okwekebeza bamanye bwebayimiridde, okukola dduyiro, beegendereze bye balya, beewale omwenge oguyitiridde, bavuge ebidduka nobwegendereza olwo lwebajja okubaako kyebagatta ku Buganda ne Uganda.
Owek. Mayiga era akakasizza nti omwaka guno Obwakabaka tebugenda kusaagira ku bya bulamu by’abantu ba Beene nga bwekityo bagenda kukunga abantu okukola dduyiro okusobola okubakuuma nga balamu.

Ono akubiriza ebenju ya Kabonge okusigala nga bali bumu era tebalekerera Nnamwandu n’abaana.
Ye munnamateeka era muganda w’omugenzi, Francis Bbuule okuva mu Bbuule and Mayiga Company Advocates yeebaziza abo bonna abazze nga babadukirira okulaba nga bataasa obulamu bwa mutoowe.
Nnamwandu wamu n’abaana bebaziza abazze babayambako mu kujanjaba omuntu wabwe nebabasaba bulijjo okusigaza omuntu omulungi.
Bwabadde ayigiriza Bwannamakulu w’ekigo kya Our lady of Holy Rosary Kitagobwa Kiteezi Rev. Fr. Charles Herman Ssuuna asabye abakiriza okutambulira mu kkubo egolokofu basobole okufuna empeera kunsi ne mu maaso Katonda.
Asabye abaana ne bazzukulu ba Kabonge banyweze obumu, basisinkane buli mwaka, olwo bajja kusobola okuyita mu bibasomooza.









