
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa asabye abantu ba Buganda okwenyigira mu bwegassi kibayambe okunyweza obumu n’okugaziya ennyingiza yabwe nga bayita mu bibiina nga CBS PEWOSA.
Obubaka buno Owek. Waggwa abuweeredde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri bw’abadde atikkula Oluwalo lwa bukadde 56 okuva mu Bannamawokota ababadde bakulembeddwamu Kayima Gabriel Kabonge.
Owek. Nsibirwa agamba nti enteekateeka y’okwewola nga basinziirira mu bibiina byabwe nnungi ddala kubanga eyamba okugatta ku muwendo mu byenfuna ate n’okukulaakulana kw’abantu.
Mu ngeri yeemu abakubirizza abazadde okuyigiriza abaana eby’emikono mu kiseera kino eky’oluwummula baleme kutayaaya, era essira basinge kulissa ku baana abalenzi kubanga bafuuse ba kyejo nnyo ensangi zino.
Kulwa Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, Owek Israel Kazibwe Kitooke Minisita, w’Amawulire Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, asibiridde banna Mawokota entanda ya nsonga nnya kwebaba beesigama okusobola okugenda mu maaso, okuli, obuyiiya, obunyiikivu, okukola obutaweera, n’obwerufu.

Omwami wa Kabaka amulamulirako essaza Mawokota Kayima Gabriel Kabonge yebaziza Obwakabaka olwenteekateeka ezenkulaakulana zebassa bantu era ezikyusiza embeera zaabwe.
Abaami b’egombolola ezikiise bawaddeyo alipoota eri Katikkiro eziraga byebatuuseeko ne byebateeseteese okukola.
Abakiise embuga mubaddemu Abatongole ba Ssaabasajja Abaami b’Emiruka, abaweereza ku mitendera egyenjawulo , nabaana bamasomero okubadde Assurance primary School, St Juliana primary School, aba Former Footballers Initiative (Abaagusambako) n’abalala.
Mu ggombolola ezikiise embuga kuliko; Mumyuka Kamengo, Ssaabwaali Nkozi, Musaale Buwama, Musaale Busukuma, Musaale Buwama, Ssaabaddu Kituntu,Nazigo Mutuba II nga bano bonna baleese oluwalo lwa bukadde 56.









