
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga abikidde Obuganda ku kuzaama kw’Omuzaana maama w’Omulangira Kiweewa Jjunju, Amb. Venetia Sebubandi eyafa ku ntandikwa ya wiiki eno oluvannyuma lw’okulwalira akaseera.
Obubaka buno obuliko omukono gw’ Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa. Minisita w’Amawulire Owek. Israel Mayengo yabusomedde bannamawulire ku Lwokuna e Bulange e Mmengo.
Owek. Nsibirwa ategeezezza Obuganda nti Omuzaana Sebubandi ajja kuterekebwa e Rusororo mu ggwanga lya Rwanda era Obwakabaka bwakwetaba butereevu mu nteekateeka z’okumutereka.
Ekiwandiiko kino kigattako nti Obuganda bwonna bukubagiza n’okukungubagirako Ssaabasajja Kabaka, Omulangira Jjunju Kiweewa n’Olulyo Olulangira olw’eddibu lino erizzeewo.
Okusinziira ku Katikkiro, Omuzaana Sebubandi abadde muntu wa kisa omwetowaze wakati ng’ abadde muntu wa kitiibwa era abadde ayamba buli muntu abadde amutuukirira.
Gutusinze nnyo Ayi Ssaabasajja Kabaka, Twakuumye Bubi Omuzaana naatugendako.








