
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Omumyuka ow’Okubiri owa Katikkiro era omuwanika w’Obwakabaka, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa alabudde abayizi okwewala ebintu ebiyinza okubaggya ku misomo gyabwe wabula banyweze ekalamu okutangaaza ebiseera byabwe eby’omu maaso.
Owek. Nsibirwa abyogeredde mu Bulange e Mmengo ku Lwokuna bw’abadde atikkula Oluwalo okuva mu masomero ga Janan Schools.
Nsibirwa alaze abayizi obukulu bw’okusoma era naasaba naddala abaaana ab’obuwala okwewala ebiyinza okubaviirako okuwanduka mu ssomero basobole okumalako emisomo.
Ono abakuutidde okunyweza empisa era bakulembeze Katonda mu buli kimu okusobola okuwangula ensi.
Ate Minisita w’Amawulire, okukunga abantu era omwogezi w’Obwakabaka, Owek. Israel Kazibwe bw’abadde atikkula Oluwalo kulwa Katikkiro okuva mu masomero amalala n’eggombolola ez’enjawulo asabye abazadde okulekerawo abayizi akadde ak’okuwummula basobole obuteetamwa kusoma.

Owek Kazibwe ategeezezza abantu ba Ssaabasajja Kabaka nti amaanyi ga Uganda be bakulembeze ab’ensikirano. Abasabye okugoberera ensonga Ssemasonga ettano.
Bano abasuubizza nti Obwakabaka bwakusigala nga bukolagana n’ebitundu ebirala okuleetawo enkulaakulana.
Ye Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, Owek. Joseph Kawuki akubirizza abavubuka okwongera okuwagira n’okugoberera enteekateeka z’Obwakabaka basobole okulaakulana.
Omutandisi w’amasomero ga Janan Omuk. Mike Kironde yeebazizza Obwakabaka olw’ enteekateeka zebusaawo ezikyusa embeera zabantu nga ziyita mu byenjigiriza , ebyobulamu nebirala era nategeeza nti okuleeta abayizi embuga balubiridde okubannyikizaamu empisa , n’ ennono zaabwe bakule nga bazimanyi.
Kubabaddewo ku lwa babaka ba Palamenti kubaddeko Hon. Sserukenya David, Makindye Ssaabagabo awamu ne Hon Nakuth Faith ( Woman MP Napak District) ono nga ajjukizza Obwakabaka nga webulina akakwate ku Karamoja nga kava ku Ssekabaka Muteesa II eyawaayo omusaala gwe ogwasooka mu woofiisi okuzimba amalwaliro e Karamoja.
Eggombolola ezikiise embuga zivudde mu masaza ag’enjawulo okuli Ssingo, Buddu, Kyaddondo, ate eggombolola okuli; Mumyuka Bugaya, Ssaabaddu Busamuzi, Ssaabagabo Nairambi, Ssaabawaali Bweema ne Musaale Ssejja ze zivudde e Buvuma.
Amasomero agakiise embuga kubaddeko elya Janan Schools nga gano gakulirwa Omuk. Mike Kironde , Kajjansi Progressive SS, Kyadondo Technical Institute n’amalala.









