• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga asisinkanye Ssaabawandiisi wa NRM Twodong, nebateesa okutumbula embeera z’abantu

Gambuuze by Gambuuze
October 25, 2023
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga asisinkanye Ssaabawandiisi wa NRM Twodong, nebateesa okutumbula embeera z’abantu
0
SHARES
39
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Bulange – Mmengo

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asisinkanye Ssaabawandiisi w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) Richard Todwong nebateesa ku ngeri gyebasobola okukolaganamu okutumbula embeera z’abantu mu Buganda ne Uganda.

Ensisinkano eno eyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu  era nga Katikkiro Mayiga abadde awerekeddwako Minisita w’Amawulire era Omwogezi wa Buganda, Owek. Israel Kazibwe Kitooke.

“Tufunye omukisa okwogera ku nsonga endala nnyingi naddala ezikwata ku kubangula abavubuka bayige emirimu, twogedde neku nteekateeka endala zetulina ng’ Emmwaanyi Terimba ez’okulwanyisa obwavu nga njagala gavumenti etuwagire kuba ayamba abantu bonna awatali kusosola,” Owek. Mayiga bw’ategeezezza.

Mukuumaddamula agamba nti era batunuddeko ku luuyi lw’ebyobulamu kuba Buganda ebadde egema Corona, okulwanyisa omusujja gw’ensiri, okukung’aanya omusaayi ate nga ne Beene ye Munyeenye y’okulwanyisa Mukenenya nga singa wabaawo enkolaganira awamu omuntu wa bulijjo yabeera aganyulwa.

Ye Ssaabawandiisi Todwong yeebaziza Katikkiro Mayiga olw’okulwana okulaakulanya abantu era nasuubiza okukolaganira awamu mu nsonga z’ebyobulimi, eby’obulamu awamu n’okutumbula obuyonjo mu bantu.

Todwong agamba nti  eggwanga liyimirira ku masiga asatu okuli erya Gavumenti, eddiini awamu n’obukulembeze obw’ensikirano nga bwekityo balina okubeera nti batambulira wamu.

Ono akakasizza nti gavumenti terina mbiranye yonna ne Buganda  era kino kyeeyolekera bulungi mu ngeri Katikkiro Mayiga gyabadde ayaniriza buli muntu okugabana ebirowoozo n’okulaba eggwanga bwerisobola okugenda mu maaso.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist