• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Ssaabasajja Kabaka agguddewo Olukiiko olwa 31, naalabula ku nkwe n’ekibbattaka

Gambuuze by Gambuuze
August 21, 2023
in Amawulire
0 0
0
Ssaabasajja Kabaka agguddewo Olukiiko olwa 31, naalabula ku nkwe n’ekibbattaka
0
SHARES
71
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Bulange – Mmengo

Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naggulawo Olukiiko lwa Buganda olwa 31 era naasaba Abaami abaggya okwewala enkwe wabula bafuuke eky’okulabirako ky’obuweereza obulungi.

“Abeeyanzizza Obwami tubakuutira okubeera eky’okulabirako era ekifaananyi eky’obuweereza obulungi nga mwemuli obuwulize, obumalirivu obutaliimu nkwe. Twagala abavubuka baffe n’abantu bonna okwegomba obuweereza bwammwe n’okulaga nti tusobolera ddala bulungi okutuusa obuweereza eri abantu baffe mu mukwano nga tugoberera amateeka awamu n’ ennono, ” Omutanda bw’ategeezza Olukiiko.

 Nnyinimu asabye abantu okwongera okwettanira obulimi awatali kukoowa era nasaba gavumenti okutwala eby’obulimi ng’essomo ekkulu ennyo era lisomesebwe okutuuka mu Siniya kisobozese abaana okuyiga eby’obulimi nga bakyali mu masomero.

Kabaka asabye kkooti ez’enjawulo ziyambeko okulwanyisa ekibbattaka kubanga emirundi mingi abantu abagobaganyizibwa ku ttaka beekubira enduulu wabula emisango gyabwe nekitwala akaseera okuwuliriza emisango gino.

Omutanda asoose kukulisa  Abaami abaweereddwa obuvunaanyizibwa obutali bumu era neyeebaza abaami abawummudde olw’ettofaali lyebatadde ku kuzimba Buganda.

Ye Katikkiro Charles Peter  Mayiga bw’abadde ayogerera mu Lukiiko luno aweze mu maaso ga Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka nga bwebatagenda kubongoota nga bassa ebiragiro bye munkola era nakakasa nti bakuggyayo nag’omu buto okufunvubira okulwana bazze Buganda ku ntikko.

Owek. Mayiga yeebazizza abantu abazze okubugiriza Nnyinimu Ssaabasajja nga atuukiriza akalombolombo k’okuggulawo Olukiiko.

Mu Lukiiko luno Abaami abaggya omuli baminisita, Abaami b’Amasaza  awamu n’Abakiise  beeyanzizza Obwami era nebawera obutatiirira Nnyinimu.

Olukiiko luno lwetabiddwamu Nnaalinnya Lubuga, Agnes Nnabaloga, Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Omulangira David Kintu, Omulangira Crispin Jjunju,  Omumbejja Katrina Ssaangalyambogo, Ssaabaganzi Emmanuel Ssekitooleko, Abataka b’Obusolya awamu n’abantu abalala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist