
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Abadde Minisita w’Abavubuka, Ebyemizannyo n’Okwewummuzaamu mu Buganda, Owek. Henry Ssekabembe Kiberu awaddeyo woofiisi eri minisita omuggya, Owek. Robert Sserwanga wakati mu kusaba abaganda okusigala obumu era banywerere ku Ssaabasajja Kabaka.
Omukolo guno guyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokuna nga gwetabiddwako ne minisita omuggya ow’Amawulire, Owek. Israel Kazibwe Kitooke n’abakungu abalala.
Owek. Ssekabembe asinzidde wano nasaba munne amudidde mu bigere okwongera okubeera omuyiiya era omuvumbuzi asobole okwongera okutwala minisitule eno mu maaso.
Ono asabye abantu bulijjo okumanya nti Obwakabaka buzimbirwa ku mitendera era kino kijja kugenda mu maaso nemu mirembe egiriddawo nga ekikulu kya buli muntu kuteekako ttaffaali mu lugendo luno.
Ssekabembe yeebazizza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olw’okusiima namulengera ng’akyali muvubuka muto namuteekamu obwesige okuweereza ate era namulera .
Mu ngeri yeemu yeeyanzizza Namunswa olw’okusoosowaza abavubuka kyagambye nti kibayambe okusitulwa mu ngeri ez’ejawulo.
Owek. Ssekabembe era yebazizza Olulyo olulangira, Katikkiro ne kabineeti ya Kabaka, wamu n’abaweereza ba Ssaabasajja bonna olw’enkolagana ennungi gyebabadde nayo mu banga lyaweerezza Namunswa.
Ono era yeebazizza bannamawulire okuva mu bitongole eby’enjawulo abakolaganye naye ebbanga lyamaze mu buweereza wamu ne bannabyamizannyo bonna era nabakuutira okusiga bettanira enteekateeka z’Obwakabaka ate bakwatagane bulungi neyamuddide mu bigere.
Mu balala Owek. Ssekabembe beyebazizza mulimu Bajjajja Abataka abakulu ab’Obusolya, Abaami b’Amasaza, abavubuka naddala abali mu bibiina bya Buganda byonna muli Nkobazambogo, Akeezimbira, Buganda Youth Council n’ebibiina ebirala, okwo kwossa abantu ba Buganda bonna.
Kinajjukirwa nti Beene era yasiimye Minisitule eno ebadde ey’ Abavubuka, Emizannyo n’Okwewummuza efuuke eya Minisitule y’ Abavubuka, Ebyemizannyo n’Ebitone.









